1Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olwʼokwagala kwa Katonda, ne Sossene
2tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso nʼeri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, nʼabo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe;
3ekisa kibe ku mmwe nʼemirembe egiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Kristo.
4Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olwʼekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu,
5mu ye mwagaggawazibwa mu buli kintu, ne mu kwogera kwonna, era ne mu kutegeera kwonna,
6era ngʼobujulirwa bwa Kristo bwe bwakakasibwa mu mmwe,
7muleme kubaako kye mwetaaga mu kirabo kyonna, nga mulindirira okubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
8Era oyo yʼalibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.
9Katonda mwesigwa, oyo eyabayita mu kussekimu okwʼOmwana we Yesu Kristo Mukama waffe.
10Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube nʼomutima gumu nʼendowooza emu.
11Abooluganda, abʼewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti Mu mmwe mulimu ennyombo.
12Kye ŋŋamba kye kino nti Buli omu ku mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, nze ndi wa Apolo, nze ndi wa Keefa, nze ndi wa Kristo.
13Kale Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo?
14Neebaza Katonda kubanga nze sibatizanga muntu nʼomu ku mmwe okuggyako Kulisupo ne Gaayo.
15Noolwekyo si ku lwa nga wabaawo agamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange.
16Naye nzijukira nga nabatiza abʼomu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna.
17Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si ku lwa ngʼomusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.
18Ekigambo kyʼomusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.
19
20Kale omugezi aluwa? Nʼomuwandiisi aluwa? Omuwakanyi wʼomulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi agʼensi eno okuba obusirusiru?
21Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ngʼensi teyinza kumumanya ngʼeyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bwʼokubuulira Enjiri okulokola abakkiriza.
22Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi,
23naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru,
24naye eri abaayitibwa, Abayudaaya nʼAbamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda.
25Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi gʼabantu, nʼobunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
26Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli bʼamaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa.
27Naye Katonda yalonda ebisirusiru ebyʼensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu ebyʼensi, akwase abʼamaanyi ensonyi,
28era nʼalonda abakopi abʼensi nʼabo abanyoomebwa; era nʼebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo,
29waleme kubaawo muntu nʼomu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda.
30Kyokka ku bwʼoyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, nʼokutukuzibwa, nʼokununulibwa,
31nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.