1Abooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja,
2bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja.
3Bonna baalyanga emmere yʼemu eyʼomwoyo,
4era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu ekyʼomwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olwʼomwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo.
5Naye era abasinga obungi Katonda teyabasiima, bwe batyo ne bazikirizibwa mu ddungu.
6Ebintu bino ebyabatuukako bitulabula obuteegomba bibi nga bo bwe baakola.
7
8Tetusaana kubeera benzi ngʼabamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu.
9Era tetusaana kukema Kristo ngʼabamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza.
10Era temwemulugunyanga ngʼabamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.
11Ebyo byonna byabatuukako ngʼekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olwʼokutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero.
12Kale alowooza ngʼayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa.
13Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, nʼabalaga nʼekkubo eryʼokubiwangula.
14Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala.
15Muli bantu abategeera. Kale, mulabe obanga kye njogera kye kikyo.
16Ekikompe ekyʼomukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okwʼomusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okwʼomubiri gwa Kristo?
17Kubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu.
18Mulabe Isirayiri owʼomubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na Kyoto?
19Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti Ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso?
20Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni musse kimu nabo.
21Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.
22Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi?
23Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba.
24Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.
25Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olwʼomwoyo gwammwe.
26Kubanga ensi ya Mukama nʼokujjula kwayo.
27Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olwʼobulungi bwʼomwoyo gwammwe.
28Kyokka omuntu yenna bwʼabategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olwʼoyo abategeezezza nʼolwʼobulungi bwʼomwoyo gwammwe,
29bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogwʼoli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gwʼomulala?
30Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olwʼekyo kye ndya nga neebazizza?
31Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda.
32Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde abʼekkanisa ya Katonda.
33Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bwʼabalala balyoke balokolebwe.