1 Abakkolinso 11:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.

2Mbatenda nnyo Olwʼokunzijjukiza mu bintu byonna era nʼolwʼokunyweza ebyo bye nabayigiriza.

3Kyokka njagala mutegeere nti Kristo ye mutwe gwa buli muntu, nʼomusajja gwe mutwe gwa mukazi we. Era Katonda ye mutwe gwa Kristo.

4Noolwekyo omusajja yenna bwʼasaba oba bwʼayogera ebyʼobunnabbi nga taggyeko kibikka ku mutwe gwe, aba aswaza omutwe gwe.

5Nʼomukazi bwʼasaba oba nʼayogera ebyʼobunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu nʼoyo amwereddwako enviiri.

6Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako.

7Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi nʼekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye kyʼekitiibwa kyʼomusajja.

8Kubanga omusajja teyatondebwa ngʼaggibwa mu mukazi, wabula omukazi owʼolubereberye ye yaggyibwa mu musajja.

9Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olwʼomusajja.

10Kale olwʼensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti Afugibwa era ne bamalayika bakirabe.

11Kyokka mu Mukama waffe, omukazi nʼomusajja, buli omu yeetaaga munne.

12Kuba, newaakubadde ngʼomukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.

13Kale nammwe bennyini mwebuuze obanga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe.

14Obuzaaliranwa tebubalaga ngʼomusajja bwʼaba nʼenviiri empanvu tekimuweesa kitiibwa,

15ate ngʼomukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako.

16Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.

17Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi.

18Ekisooka bwe mukuŋŋaana ngʼekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ngʼebimu ku ebyo bituufu.

19Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke.

20Bwe mukuŋŋaana ekyo kye mulya si kye kyekiro kya Mukama waffe.

21Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ngʼabalala bo batamidde.

22Temulina wammwe gye muyinza okuliira nʼokunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olwʼekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda.

23Kubanga Mukama yennyini kye yampa kyʼekyo kye nabayigiriza nti, Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yaddira omugaati,

24ne yeebaza Katonda, nʼagumenyaamenyamu, nʼagamba nti, “Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”

25Era mu ngeri yʼemu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe nʼagamba nti, “Ekikompe kino yʼendagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa nʼomusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga.”

26Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lwʼalijja.

27Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe.

28Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati nʼokunywa ku kikompe.

29Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga.

30Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu nʼabalwadde, era bangi bafudde.

31Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga.

32Kyokka Mukama bwʼatusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu nʼensi.

33Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, buli omu alinde munne.

34Era singa wabaawo alumwa enjala amale okulya eka, bwe mukuŋŋaana muleme kwereetako musango. Nʼebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.

e>