1Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo.
2Mumanyi nti Bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera.
3Noolwekyo njagala mutegeere nti Tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda nʼayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali nʼomu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
4Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba yʼomu.
5Waliwo engeri nnyingi ezʼokuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa yʼomu.
6Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola yʼomu.
7Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olwʼokugasa bonna.
8Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo ekyʼamagezi, omulala Omwoyo oyo omu nʼamuwa okuyiga nʼategeera.
9Omulala Omwoyo yʼomu nʼamuwa okukkiriza, nʼomulala nʼamuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde.
10Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, nʼomulala nʼamuwa okwogera ebyʼobunnabbi, ate omulala nʼamuwa okwawulanga emyoyo emirungi nʼemibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, nʼomulala nʼamuwa okuzivvuunula.
11Naye Omwoyo akola ebyo byonna yʼomu, yʼagabira buli muntu ngʼOmwoyo oyo bwʼayagala.
12Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba nʼebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bwʼali bwʼatyo.
13Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.
14Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi.
15Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri.
16Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu kyʼomubiri?
17Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa?
18Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi ebyʼenjawulo nʼalyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala.
19Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa?
20Naye kaakano ebitundu bingi naye ngʼomubiri guli gumu.
21Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba nʼomutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.”
22Era ebitundu ebyo ebyʼomubiri ebirabika ngʼebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo.
23Era nʼebitundu ebyo ebyʼomubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, nʼebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira,
24so ngʼebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bwʼatyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa nʼabyongera ekitiibwa,
25olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka.
26Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.
27Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo.
28Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, nʼabookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola ebyʼamagero, ne kuddako abalina ebirabo ebyʼokuwonya endwadde, nʼokuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era nʼaboogezi bʼennimi.
29Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero?
30Bonna balina ekirabo kyʼokuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi?
31Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.