1 Abakkolinso 13:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Singa njogera ennimi zʼabantu nʼeza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ngʼekidde, ekireekaana oba ngʼekitaasa ekisaala.

2Ne bwe mba nʼekirabo ekyʼokwogera ebyʼobunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba nʼokukkiriza okungi ne kunsobozesa nʼokusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu.

3Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.

4Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza.

5Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo.

6Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima.

7Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

8Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, nʼennimi zirikoma, nʼebyʼamagezi birikoma.

9Kubanga tumanyiiko kitundu, ne bunnabbi nabwo bwa kitundu.

10Naye ebituukiridde bwe birijja, olwo ebyʼekitundu nga biggwaawo.

11Bwe nnali omuto, nayogeranga ngʼomuto, nalowoozanga ngʼomuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka ebyʼekito.

12Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ngʼabali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso nʼamaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.

13Kaakano waliwo ebintu bisatu ebyʼolubeerera: okukkiriza, nʼokusuubira, era nʼokwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.

e>