1Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo ebyʼOmwoyo, na ddala ekirabo ekyʼokwogera ebyʼobunnabbi.
2Kubanga ayogera mu nnimi tayogera nʼabantu, wabula ayogera na Katonda. Kubanga tewali nʼomu ategeera byʼagamba. Aba ayogera bya kyama mu Mwoyo.
3Naye oyo ategeeza abantu ebyʼobunnabbi ayogera ebibazimba, ebibagumya era nʼokubazzaamu amaanyi.
4Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera ebyʼobunnabbi azimba ekibiina kyonna ekyʼabakkiriza.
5Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere ebyʼobunnabbi, kubanga ayogera ebyʼobunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe.
6Kale kaakano, abooluganda, bwe nzija gye muli ne njogera mu nnimi mbagasa ntya? Naye bwe mbategeeza ebyo Katonda byʼambikulidde oba bye njize mu kutegeera, oba ebyʼobunnabbi, oba bye njigiriza, olwo mmanyi nga mbagasa.
7Era nʼebivuga ebitalina bulamu, ngʼendere oba ennanga, bwe bitavuga mu maloboozi gategeerekeka, omuntu ayinza atya okutegeera oluyimba olufuuyibwa oba olukubibwa?
8Era singa omufuuyi wʼeŋŋombe tafuuwa ddoboozi Iitegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo?
9Mu ngeri yʼemu, bwe mwogera nʼomuntu mu lulimi lwʼatamanyi, asobola atya okutegeera kye mugamba? Muba mwogeredde bwereere.
10Weewaawo waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era zonna zirina amakulu.
11Naye omuntu bwʼayogera olulimi lwe simanyi, aba ngʼomugwira gye ndi, nange mba ngʼomugwira gyʼali.
12Bwe mutyo nga bwe mwegomba okufuna ebirabo ebyʼOmwoyo, mufubenga nnyo mulyoke musobole okuzimba Ekkanisa ya Kristo.
13Kale buli ayogera mu lulimi asabe Katonda amusobozese okuluvvuunula.
14Kubanga bwe nsaba Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omwoyo gwange gusaba, naye sibaako kye nganyulwa.
15Kale kino ki? Nnaasinzanga Katonda nʼomwoyo gwange awamu nʼamagezi gange era nnaayimbanga mu mwoyo gwange awamu nʼamagezi gange.
16Kubanga bwʼotendereza Katonda mu mwoyo gwo, omuntu atategeera kyʼogamba ayinza atya okuddamu nti, “Amiina!” ngʼomaliriza okwebaza, ngʼebigambo ebyebazizza tabitegedde?
17Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza Katonda, naye omulala nga tagasibbwa.
18Neebaza Katonda kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna.
19Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere nʼamagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere.
20Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ngʼabaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe.
21Era kyawandiikibwa mu mateeka nti,
22Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kwʼabo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza.
23Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti Mulaluse?
24Naye singa bonna boogera ebyʼobunnabbi, atali mukkiriza oba atamanyi nʼayingira, ebyo ebyogerebwa byonna, bijja kumuleetera okulumirizibwa olwʼebibi bye, yeesalire omusango,
25ebyama byʼomu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bwʼagamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”
26Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba ekyʼokuyigiriza, oba ekyo Katonda kyʼamubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olwʼokuzimba Ekkanisa ya Katonda.
27Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo nʼavvuunula.
28Naye bwe watabaawo avvuunula omwogezi wʼennimi asirike busirisi mu Kkanisa wabula ayogerere munda ye ne Katonda.
29Kyokka abo aboogera ebyʼobunnabbi boogerenga babiri oba basatu, ngʼabalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa.
30Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo kya Katonda, oyo abadde ayogera asirikenga.
31Kubanga mwenna musobola okwogera ebyʼobunnabbi nga mwogera mu mpalo, bonna balyoke bayige era bongerwemu amaanyi.
32Abalina omwoyo ogwʼobunnabbi bafugibwa bannabbi,
33kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe.
34abakazi basirikenga busirisi mu kuŋŋaaniro, kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula okukulemberwa ngʼamateeka bwe gagamba.
35Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa.
36Kale mulowooza nti Ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba nti Mmwe be kyatuukako mwekka?
37Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu owʼomwoyo, ategeere mu bujjuvu nti Bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama.
38Naye omuntu yenna atabifaako naye si wa kufiibwako.
39Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera ebyʼobunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza.
40Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ntegeka entuufu.