1Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu.
2Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere.
3Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olwʼebibi byaffe, ngʼEbyawandiikibwa bwe bigamba,
4era nti Yaziikibwa, nʼazuukizibwa ku lunaku olwokusatu ngʼEbyawandiikibwa bwe bigamba,
5era nti yalabibwa Keefa nʼoluvannyuma ekkumi nʼababiri.
6Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ngʼabalala baafa.
7Olwo nʼalyoka alabikira Yakobo, nʼoluvannyuma nʼalabikira nʼabatume bonna.
8Oluvannyuma lwa bonna nʼalyoka alabikira nange, ngʼomwana azaalibbwa nga musowole.
9Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda.
10Naye olwʼekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola.
11Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti Twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza.
12Kale obanga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukizibwa mu bafu lwaki abamu mu mmwe bagamba nti Tewali kuzuukira kwa bafu?
13Kale obanga tewali kuzuukira kwa bafu ne Kristo teyazuukizibwa.
14Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era nʼokukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa.
15Ate era tuba ngʼaboogera ebyʼobulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ngʼabafu tebazuukizibwa.
16Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa.
17Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe.
18Era nʼabo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira.
19Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna.
20Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye ebyʼabo abaafa.
21Kuba ngʼokufa bwe kwaleetebwa omuntu, era nʼokuzuukira kwʼabafu kwaleetebwa muntu.
22Kuba ngʼabantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo.
23Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bwʼalijja ababe ne baddako,
24olwo enkomerero nʼeryoka etuuka, Kristo nʼakwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ngʼamaze okuzikiriza obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna era nʼamaanyi gonna.
25Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bwʼalissa abalabe be bonna wansi wʼebigere bye.
26Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa.
27Kubanga yassa ebintu byonna wansi wʼebigere bye. Naye bwʼagamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli eyʼamusobozesa okufuga ebintu byonna.
28Katonda bwʼalimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, nʼalyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda nʼalyoka afugira ddala byonna.
29Kale obanga abafu tebazuukizibwa, abo ababatizibwa ku lwʼabafu balikola batya? Era kale lwaki babatizibwa ku lwabwe?
30Era ffe lwaki tuli mu kabi buli kaseera?
31Abooluganda, olwʼokwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nnina mu Kristo Yesu Mukama waffe, nkakasa nti Nfa buli lunaku.
32Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana nʼensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa,
33Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”
34Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.
35Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “Abafu bazuukizibwa batya?” Era nti, mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo?
36Musirusiru ggwe! Ensigo gyʼosiga temeruka nga tennafa.
37Era ensigo eyo gyʼosiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala.
38Naye Katonda agiwa omubiri nga bwʼayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo.
39Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogwʼabantu, waliwo ogwʼensolo, waliwo ogwʼennyonyi, era waliwo nʼogwʼebyennyanja.
40Noolwekyo waliwo emibiri egyʼomu ggulu, nʼemibiri egyʼomu nsi. Naye ekitiibwa kyʼemibiri egyʼomu ggulu kirala, era nʼekyʼegyʼomu nsi kirala.
41Waliwo ekitiibwa kyʼenjuba, waliwo ekyʼomwezi, era waliwo ekitiibwa ekyʼemmunyeenye. Naye era nʼemmunyeenye tezenkanankana mu kwaka kubanga buli munyeenye ya njawulo mu kwaka.
42Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda.
43Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi.
44Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo.
45kyekyava kiwandiikibwa nti,
46Naye ekyʼomwoyo si kye kyasooka, wabula ekyʼomubiri obubiri kye kyasooka, nʼoluvannyuma ekyʼomwoyo ne kijja.
47Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu.
48Ngʼeyakolebwa mu nfuufu bwʼali, nʼabo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali.
49Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.
50Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti Omubiri guno ogwʼoku nsi, ogwʼennyama nʼomusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera.
51Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe eyʼenkomerero bwʼerivuga ffenna tulifuusibwa
52mu kaseera katono ngʼokutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, nʼabafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa.
53Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa.
54
55
56Obuyinza obulumya buva mu kibi, nʼamaanyi gʼekibi gava mu mateeka.
57Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
58Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti Okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.