1 Abakkolinso 16:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba abʼEkkanisa zʼe Ggalatiya.

2Buli omu ku mmwe ngʼasinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako kyʼatereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.

3Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi.

4Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.

5Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono.

6Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera ebyʼobutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga.

7Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bwʼalisiima.

8Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote.

9Kubanga ddala oluggi lwʼEnjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ngʼeriyo bangi abampakanya.

10Timoseewo bwʼajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze.

11Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze nʼabooluganda tumulindiridde.

12Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ngʼali nʼabooluganda abalala, kyokka ye nʼatayagala kujja kaakano, wabula alijja ngʼafunye ebbanga.

13Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era abʼamaanyi.

14Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.

15Abooluganda, mumanyi nti Mu Akaya abʼomu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba nʼokuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba

16muwulirenga abantu ngʼabo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo.

17Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko[5] bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe.

18Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ngʼabo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.

19Ekkanisa eyʼomu Asiya ebalamusizza. Akula ne Pulisikira awamu nʼEkkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.

20Era abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu nʼokunywegera okutukuvu.

21Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini nʼomukono gwange.

22Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!

23Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

24Mwenna mbalamusizza nʼokwagala mu Kristo Yesu. Amiina.

e>