1 Abakkolinso 2:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli.

2Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa.

3Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo.

4Era okubuulira kwange nʼokuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu,

5okukkiriza kwammwe kuleme kuba kwʼamagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

6Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera ebyʼamagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde agʼabafuzi abʼomu mulembe guno abaggwaawo.

7Wabula twogera ebyʼamagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda nʼedda olwʼekitiibwa kyaffe;

8tewali nʼomu ku bafuzi abʼomulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama owʼekitiibwa.

9Naye nga bwe kyawandiikibwa nti,

9“Eriiso bye litalabangako, nʼokutu bye kutawulirangako, nʼomutima gwʼomuntu kye gutalowoozangako Katonda bye yategekera abo abamwagala.”

10Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, nʼebyʼomunda ennyo ebya Katonda.

11Kubanga muntu ki ategeera ebyʼomuntu omulala okuggyako omwoyo wʼomuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo nʼebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda.

12Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa,

13era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okwʼamagezi gʼabantu, naye mu bigambo Omwoyo byʼayigiriza, ebintu ebyʼOmwoyo nga bikwatagana nʼebyʼOmwoyo.

14Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gyʼali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo.

15Naye omuntu owʼOmwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali nʼomu amukebera.

16“Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama, era ani alimulagira? Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”

>