1Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ngʼabʼomwoyo, naye nayogera nammwe ngʼabʼomubiri era ngʼabaana abawere mu Kristo.
2Nabanywesa mata so si mmere enkalubo, kubanga mwali temunnagisobola. Naye era ne kaakano temunnagisobola,
3kubanga mukyafugibwa mubiri. Naye obanga mukyalimu obuggya nʼennyombo, temufugibwa mubiri era temutambula ngʼabalina empisa zʼabantu obuntu?
4Kubanga omuntu yenna bwʼagamba nti, “Nze ndi wa Pawulo,” nʼomulala nti, “Nze ndi wa Apolo,” olwo temuba ngʼabantu obuntu?
5Kale Apolo ye ani? Ne Pawulo ye ani? Baweereza buweereza ababakkirizisa, nga Mukama bwe yawa buli omu.
6Nze nasiga, Apolo nʼafukirira, kyokka Katonda ye yakuza.
7Kale bwe kityo oyo asiga nʼoyo afukirira si be bakulu wabula Katonda akuza.
8Oyo asiga kaakano nʼoyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gwʼaliba akoze.
9Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
10Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ngʼomuzimbi owʼamagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bwʼaguzimbako.
11Kubanga tewali nʼomu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo.
12Naye Omuntu bwʼaguzimbisaako ezaabu, effeeza, nʼamayinja agʼomuwendo nʼemiti, nʼessubi, oba ebisasiro;
13omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli.
14Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera.
15Naye omulimu gwʼomuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ngʼayita mu muliro.
16Temumanyi nti Mmwe muli Yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe?
17Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.
18Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi.
19Kubanga amagezi agʼensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.”
20Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ngʼebirowoozo byʼabagezi temuli nsa.”
21Noolwekyo waleme kubaawo muntu nʼomu yeenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe,
22oba Pawulo oba Apolo oba Keefa oba nsi, oba bulamu, oba kufa, oba bintu ebya kaakano, oba ebijja, byonna byammwe,
23nammwe muli ba Kristo, ne Kristo wa Katonda.