1Omuntu asaanidde atulabe ngʼabaweereza ba Kristo era abawanika bʼebyama bya Katonda.
2Ate era omuwanika kimugwanira okuba omuntu omwesigwa.
3Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango oba omuntu yenna ku lunaku olwʼokusalirako omusango; nange sseesalira musango.
4Kubanga nze seemanyiiko nsonga yonna, wabula ekyo tekimpeesa butuukirivu, naye ansalira omusango ye Mukama waffe.
5Noolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lwʼalijja, alimulisa ebyakwekebwa ebyʼekizikiza, nʼayolesa nʼebigendererwa byʼomutima, buli muntu nʼalyoka atendebwa Katonda.
6Kaakano abooluganda ebintu ebyo mbigeredde ku nze ne ku Apolo ku lwammwe, mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa, omuntu omu alemenga okwegulumiza ngʼanyooma omulala.
7Kubanga ani akwawula? Era mulina kye mutaaweebwa? Kale obanga ddala mwaweebwa, kiki ate ekibenyumirizisa ngʼabataakifuna?
8Mwakkuta dda nʼokugaggawala ne mugaggawala, era ne mufuuka bakabaka awatali ffe; naye nandyagadde mufuuke bakabaka, naffe tulyoke tufuukire wamu bakabaka nammwe.
9Kubanga ndowooza nga ffe abatume, Katonda yatuteeka ku nkomerero ngʼabasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuulibwa ekyerolerwa eri ensi, eri bamalayika nʼeri abantu.
10Tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezi mu Kristo; Ffe tuli banafu naye mmwe muli ba maanyi! Mmwe muli ba kitiibwa naye ffe tunyoomebwa.
11Era ne mu kiseera kino tulumwa enjala nʼennyonta nga tetulina na kyakwambala, tukubibwa era tubungeeta bubungeesi.
12Tutegana nga tukola emirimu nʼemikono gyaffe; tusabira emikisa abo abatukolimira; bwe tuyigganyizibwa tugumiikiriza;
13abo abatuvuma tubaddamu ne gonjebwa. Era nʼokutuusa kaakano tuli ngʼebisooto mu bigere era tuli ngʼebisaaniiko.
14Siwandiika bintu bino lwa kubaswaza naye lwa kubabuulirira ngʼabaana bange abaagalwa.
15Kubanga newaakubadde mulina abalala nkumi na nkumi ababayigiriza ebya Kristo, naye mujjukirenga nga mulina bakitammwe batono. Kubanga nze mbazaala mu Kristo olwʼenjiri.
16Noolwekyo mbongeramu amaanyi mulabire ku nze.
17Kyennava mbatumira Timoseewo omwana wange omwesigwa era omwagalwa mu Mukama waffe, anaabajjukizanga ebyo bye ngoberera mu Kristo Yesu nga bwe njigiriza wonna wonna mu buli Kkanisa.
18Naye waliwo abamu mu mmwe abeekuluntaza nga balowooza nti Sigenda kujja gye muli.
19Naye nzija mangu, Mukama bwʼanaasiima ndyoke mmanye amaanyi gʼabo abeekuluntaza so si mu bigambo obugambo.
20Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kwogera bwogezi, wabula mu maanyi.
21Kiruwa kye mwagala? Nzije nʼomuggo, oba nzije na kwagala nʼomwoyo ogwʼobuwombeefu?