1Twategeezebwa nga mu mmwe mulimu obwenzi, ate obwenzi obutali na mu baamawanga, kubanga omuntu atwala muka kitaawe nʼamufuula mukazi we.
2Mwekuluntazizza mu kifo kyʼokwewombeeka. Oyo akola ekikolwa ngʼekyo ekyʼokwekuluntaza, tasaanye kuggyibwamu mu mmwe?
3Nze newaakubadde nga siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekyo mmaze okumusalira omusango okumusinga.
4Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo nʼamaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe.
5Omuntu ngʼoyo mumuweeyo eri Setaani omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe.
6Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Temumanyi ngʼekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?
7Muggyeemu ekizimbulukusa ekyʼedda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ngʼekiweebwayo ekyʼOkuyitako ku lwaffe.
8Noolwekyo tulye embaga si na kizimbulukusa ekyʼedda, newaakubadde ekizimbulukusa ekyʼettima nʼekibi, naye tugirye nʼomugaati ogutaliimu kizimbulukusa nga gulimu obulongoofu nʼamazima.
9Mbawandiikira nga mbalabula obutegattanga na benzi,
10so si okwewala abenzi abʼensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi.
11Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti Mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ngʼate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Abʼengeri eyo nʼokulya temulyanga nabo.
12Kale nze nfaayo ki okusalira abʼebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe?
13Naye abʼebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.