1 Abakkolinso 6:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Omuntu yenna mu mmwe bwʼaba nʼensonga ne munne, agitwala eri abatali batuukirivu oba eri abatukuvu?

2Oba temumanyi ngʼabatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale obanga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga ntono eziri mu mmwe?

3Temumanyi nga ffe tulisalira bamalayika omusango, okwo nga totaddeeko bintu bya mu bulamu buno?

4Kale bwe muba nʼensonga lwaki muzitwala mu abo abanyoomebwa ekkanisa ne mubalonda okuba abalamuzi?

5Njagala kubakwasa nsonyi; ddala mu mmwe temuli muntu nʼomu alina magezi asobola okusala ensonga wakati wʼabooluganda?

6Naye owooluganda ayinza okuwoza nʼowooluganda mu maaso gʼabatali bakkiriza?

7Nʼokuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?

8Naye musobya baganda bammwe ne mubalyazaamaanya.

9Oba temumanyi ngʼabatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ngʼabakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga,[3]

10newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda.

11Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo nʼOmwoyo wa Katonda waffe.

12Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu.

13Ebyokulya bya lubuto, nʼolubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama.

14Era Katonda eyazuukiza Mukama waffe alituzuukiza olwʼamaanyi ge.

15Temumanyi ngʼemibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule ebyʼomwenzi? Kikafuuwe.

16Oba temumanyi nti Omuntu yenna eyeegatta nʼomwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, “Bombi balifuuka omubiri gumu.”

17Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.

18Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu kyʼakola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini.

19Oba temumanyi ngʼomubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era nʼemibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe?

20Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.

>