1 Abakkolinso 7:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi.

2Naye olwʼebikolwa ebyʼobwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba.

3Omusajja ateekwa okutuukirizanga ebyʼobufumbo byonna eri mukazi we era nʼomukazi bwʼatyo.

4Kubanga omukazi bwʼafumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era nʼomusajja bwʼatyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we yʼaba agulinako obuyinza.

5Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga eryʼokusabiramu nʼoluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olwʼobuteefuga bwammwe.

6Naye kino nkyogera mu ngeri ya kukkiriziganya so si mu ngeri ya kuwa kiragiro.

7Nandyagadde buli omu abeere nga nze; naye buli muntu alina ekirabo ekikye ku bubwe ekiva eri Katonda, omu mu ngeri emu nʼomulala mu ngeri endala.

8Naye njogera eri abo abatannawasa ne bannamwandu; kirungi okusigala nga bwe bali, era nga nze bwe ndi.

9Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okwʼokwegomba.

10Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba.

11Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; nʼomusajja tagobanga mukazi we.

12Abalala njogera gye bali kubanga si tteeka eriva eri Mukama waffe, naye mbagamba nti owooluganda bwʼabeera nʼomukazi atali mukkiriza ngʼayagala okubeera naye, tamugobanga.

13Era omukazi omukkiriza alina bba atali mukkiriza naye ngʼamwagala, tamuvangako.

14Kubanga omusajja atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ngʼayambibwa mukyala we omukkiriza, oba omukyala atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ngʼayambibwa bba omukkiriza. Kubanga bwe kitaba ekyo abaana bammwe banditwaliddwa ngʼabatali balongoofu naye ku lwʼekyo abaana bammwe baba balongoofu.

15Kyokka oyo atali mukkiriza bwʼayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera nʼeddembe.

16Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ngʼolirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza omanyi otya ngʼolirokola mukazi wo?

17Buli omu abeere mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda mwe yamuyitira mwʼabatambuliranga. Ekyo kyʼekiragiro kye mpa ekkanisa zonna.

18Eyayitibwa ngʼamaze okukomolebwa aleme kugamba nti Singa teyakomolebwa, nʼoyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kufaayo ku kukomolebwa.

19Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda.

20Buli omu abeerenga mu kuyitibwa Katonda kwe yamuyitiramu.

21Oba nga wayitibwa ngʼoli muddu ekyo kireme okuba ekikulu; naye bwʼoba ngʼofunye omukisa okufuuka owʼeddembe, gukozese.

22Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, nʼoyo eyali owʼeddembe yafuuka muddu wa Kristo.

23Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu.

24Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna kyʼalimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.

25Naye ku kyʼabatafumbirwanga wadde okuwasa, sirina kiragiro kiva eri Mukama wabula Mukama mu kusaasira kwe yampa amagezi agayinza okwesigibwa kwe nnaasinziira okubawa ekirowoozo kyange.

26Kino nkirowooza nga kirungi, olwʼembeera eya kaakano, nga kirungi omuntu okusigala nga bwʼali.

27Obanga oli mufumbo tosaanye kwawukana na munno. Naye obanga wayawukana nʼomukazi, tonoonya wa kuwasa.

28Kyokka omusajja bwʼawasa aba tayonoonye, era nʼembeerera bwʼafumbirwa naye aba tayonoonye. Wabula abafumbo, obufumbo bujja kubaleetera emitawaana gye nandiyagadde mwewale.

29Naye kino kye mbategeeza abooluganda nti Ekiseera kiyimpawadde. Noolwekyo abo abalina abakazi babe ngʼabatabalina.

30Nʼabo abakaaba babe ngʼabatakaaba, nʼabo abasanyuka babe ngʼabatasanyuka. Nʼabo abagula ebintu babe ngʼabatalina kintu kye bayita kyabwe.

31Era nʼabo abakozesa ebyʼoku nsi kuno bireme okubamalamu ennyo, kubanga ensi eya kaakano eggwaawo.

32Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gyʼasanyusa Mukama.

33Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bwʼanaasanyusa mukazi we;

34aba yeesazeemu, ngʼatta aga nʼaga. Nʼomukazi atali mufumbo nʼembeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gyʼanaasanyusaamu bba.

35Bino mbyogera olwʼokubagasa, so si kubaziyiza kuwasa na kufumbirwa. Kubanga njagala musobole okuweereza Mukama nga tewali birala bibaziyiza okweweerayo ddala.

36Omusajja bwʼalowooza nti Aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gwʼayogereza bwʼatamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye.

37Naye oyo asobola okwefuga ngʼalina omutima omunywevu, nʼasalawo awatali kuwalirizibwa nti Omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi.

38Kale oyo awasa omuwala gwʼayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa yʼaba asinze okukola obulungi.

39Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bwʼaba akyali mulamu. Naye bba bwʼafa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gwʼayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka.

40Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.

>