1Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala byʼomulimu gwange mu Mukama waffe?
2Obanga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe, kubanga mmwe kabonero kʼobutume bwange mu Mukama waffe.
3Ekyo kyʼekyʼokuwoza kyange eri abo abambulirizaako.
4Sirina buyinza kulya na kunywa?
5Singa nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ngʼabatume abalala ne Keefa
6Oba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera?
7Muserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro yʼemizabbibu naye nʼaziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo nʼatanywa ku mata gaamu?
8Ebyo mbyogera ku bwange ngʼomuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba?
9
10oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, nʼoyo awuula asuubire okufuna ku bibala.
11Obanga ffe twabasigamu ebyʼomwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe ebyʼomubiri?
12Kale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo nʼokusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa.
13Temumanyi ngʼabo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga nʼabo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto?
14Mu ngeri yʼemu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olwʼEnjiri.
15Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa.
16Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira.
17Kubanga bwe mbuulira Enjiri olwʼokweyagalira, mbeera nʼempeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo.
18Kale empeera yange yʼeruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olwʼomulimu ogwo nga bwe nsaanidde.
19Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olwʼokweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo.
20Eri Abayudaaya nafuuka ngʼOmuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. Nʼeri abo abafugibwa amateeka nafuuka ngʼafugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo.
21Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ngʼatafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, nʼabo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo.
22Mu banafu nafuuka ngʼomunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa.
23Byonna mbikola olwʼenjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.
24Temumanyi nga mu mpaka ezʼokudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo.
25Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okwʼamaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka.
26Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ngʼomukubi wʼebikonde amala gawujja nʼakuba ebbanga.
27Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.