1 Basessaloniika 1:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Nze Pawulo ne Sirwano[1] ne Timoseewo, tuwandiikira Ekkanisa eyʼAbasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa nʼemirembe bibeerenga gye muli.

2Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa,

3nga tujjukira omulimu gwammwe ogwʼokukkiriza, nʼokufuba okwʼokwagala nʼokugumiikiriza okwʼessuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe,

4era nga tumanyi, nga mmwe abooluganda muli mikwano gya Katonda, baayagala ennyo, be yalonda.

5Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe.

6Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu,

7ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna abʼomu Makedoniya ne Akaya.

8Kubanga ekigambo kya Mukama kibunye okuva mu mmwe, si mu Makedoniya ne mu Akaya mwokka, naye ne mu buli kifo nʼokukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna ne tutabaako kye tukwogerera.

9Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era owʼamazima,

10era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.

cle>