1 Basessaloniika 2:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Mmwe bennyini, abooluganda abaagalwa, mumanyi ngʼokujja kwaffe gye muli tekwafa busa.

2Mumanyi nga bwe twabonaabonera e Firipi, nʼokuyisibwa obubi kyokka ne tugumira mu Katonda waffe ne tubategeeza Enjiri ya Katonda nga tuli mu kuwakanyizibwa okungi.

3Kubanga okubuulirira kwaffe tekwali kwa bulimba so tekwali kwa bugwenyufu, wadde okwʼobukuusa,

4naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda nʼatwesiga nʼEnjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ngʼabaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo byʼemitima gyaffe.

5Tetugezangako kubawangula na bigambo biwaaniriza nga nammwe bwe mumanyi, wadde okuba abʼomululu era Katonda akimanyi,

6newaakubadde okunoonyaamu ekitiibwa, newaakubadde okuva eri mmwe wadde abantu abalala,

7tulyoke tulabike ngʼabatume ba Kristo abʼamaanyi. Naye twefuula ngʼabaana abato mu maaso gammwe, nga nnyina wʼabaana bwe yandyagadde abaana be,

8bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo ne tusanyuka okubatuusaako si Enjiri ya Katonda yokka naye nʼokuwaayo emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwafuuka baagalwa baffe.

9Abooluganda mujjukire okufuba kwaffe nʼokutegana kwaffe; bwe twakolanga emisana nʼekiro tuleme okubazitoowerera, nga tubabuulira Enjiri ya Katonda.

10Mmwe muli bajulirwa baffe, era ne Katonda akimanyi, nga twali bakkiriza ddala era abatuukirivu abataaliko kya kunenyezebwa, abeeweerayo ddala bwe twali mu mmwe,

11nga bwe mumanyi nga twali kitaawe wa buli omu ku mmwe nga kitaawe wʼabaana bwʼabeera eri abaana be,

12nga tubabuulirira era nga tubagumya mu mwoyo era nga tubaweerako obujulirwa, ne tubakuutira okutambulanga nga musaanira mu maaso ga Katonda, oyo abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye ne mu kitiibwa kye.

13Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ngʼekiva eri abantu wabula ngʼekiva eri Katonda, nga kyʼekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza.

14Nammwe, abooluganda abaagalwa, mwabonaabona ngʼEkkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu, nga muyigganyizibwa abantu bʼeggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baayigganyizibwa abantu bʼeggwanga lyabwe Abayudaaya.

15Bwe baamala okutta bannabbi baabwe, ne batta ne Mukama waffe Yesu, era naffe baatuyigganya nnyo; tebaasanyusa Katonda era balabe bʼabantu bonna,

16era baatugaana okubuulira Abaamawanga olwʼokutya nti Bajja kulokoka, kale ebibi byabwe byeyongera bulijjo; ku nkomerero, obusungu bwa Katonda bubabuubuukiddeko.

17Abooluganda bwe twabaawukanako nga wayiseewo akaseera akatono, wadde essaawa emu, so ngʼemitima gyaffe gisigadde eyo, twegomba nnyo okukomawo twongere okubalabako.

18Twayagala nnyo okudda gye muli, na ddala nze, Pawulo; nagezaako emirundi nʼemirundi, naye Setaani nʼatuziyiza.

19Kale Mukama waffe Yesu bwʼalijja, si mmwe mulibeera essuubi nʼessanyu lyaffe, nʼengule eyʼokwenyumiriza kwaffe?

20Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe era essanyu lyaffe.

cle>