1 Basessaloniika 3:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma nga tetukyayinza kugumiikiriza ne tusalawo okusigala ffekka mu Asene.

2Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe,

3waleme okubaawo nʼomu aterebuka olwʼokuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa.

4Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti Tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi.

5Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.

6Naye kaakano Timoseewo bwʼakomyewo ngʼava gye muli atuleetedde amawulire amalungi agʼokukkiriza kwammwe nʼokwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako.

7Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi.

8Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu.

9Kale Katonda tumwebaze tutya olwʼessanyu eritujjudde ku lwammwe olwʼessanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe?

10Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana nʼekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.

11Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli.

12Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala,

13alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bwʼalikomawo nʼabatukuvu be bonna.

cle>