1 Basessaloniika 4:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula nʼokusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo nʼokusingawo.

2Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.

3Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi,

4buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu nʼekitiibwa,

5so si mu kwegomba okwʼobukaba ngʼabamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola.

6Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa nʼobujulirwa.

7Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa.

8Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.

9Kaakano ku bikwata ku kwagalana kwʼabooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.

10Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna abʼomu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga.

11Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu byʼabalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira,

12mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.

13Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera ebyʼabo abafu, ne munakuwala ngʼabalala abatalina ssuubi.

14Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era nʼazuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu.

15Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa.

16Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, nʼekkondeere lya Katonda, nʼabo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira,

17naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.

18Kale buli omu agumyenga munne nʼebigambo ebyo.

cle>