1 Bassekabaka 1:1-53 LGCB2014 - Bible AI

1Awo kabaka Dawudi bwe yali akaddiye nnyo, nga ne bwe bamubikka takyabuguma,

2abaweereza be ne bamuwa ekirowoozo nti, “Banoonyeze mukama waffe kabaka, omuwala embeerera ayimirirenga mu maaso ga kabaka era amuweerezenga; era agalamirenga mu kifuba kya mukama waffe kabaka amubugumyenga.”

3Awo ne banoonya okubuna ensalo zonna eza Isirayiri omuwala omulungi, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka.

4Omuwala oyo yali mulungi nnyo; nʼajjanjabanga kabaka era nʼamuweerezanga, naye kabaka teyamumanya.

5 Awo Adoniya[1] mutabani wa Dawudi gwe yazaala mu Kaggisi ne yeegulumiza ngʼayogera nti, “Nze ndiba kabaka.” Ne yeetegekera amagaali nʼabeebagala embalaasi, nʼabasajja amakumi ataano abʼebigere okuddukiranga mu maaso ge.

6Kitaawe nʼatamunenya kumubuuza nti, “Lwaki weeyisa bwʼotyo?” Adoniya yali alabika bulungi nnyo, nga yʼadda ku Abusaalomu.

7Adoniya yateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya[2] ne Abiyasaali kabona, ne baamuwagira.

8Naye Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, ne Nasani nnabbi, ne Simeeyi, ne Leeyi, nʼabasajja ba Dawudi abʼamaanyi abalala tebaali ku ludda lwa Adoniya.

9Adoniya nʼattira endiga nʼente nʼebyassava awali ejjinja Zokeresi eririraanye Enerogeri, nʼayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, nʼabakungu bonna aba Yuda,

10naye nʼatayita Sulemaani muganda we wadde Nasani nnabbi, newaakubadde Benaya, newaakubadde abasajja ba Dawudi abʼamaanyi abalala.

11 Awo Nasani nʼagenda eri Basuseba nnyina Sulemaani nʼamugamba nti, “Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi?

12Kale nno kankuwe amagezi, owonye obulamu bwo nʼobwa mutabani wo Sulemaani.

13Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo yʼalirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era yʼalituula ku ntebe yange eyʼobwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’

14Laba bwʼonooba ngʼokyayogera ne kabaka, nange nnaayingira ne nkakasa ebigambo byo.”

15Awo Basuseba nʼagenda eri Kabaka, mu kisenge kye, era Kabaka yali mukadde nnyo nga Abisaagi Omusunammu amuweereza.

16Basuseba nʼakka nʼafukamirira kabaka.

16Kabaka nʼamubuuza nti, “Nkukolere ki?”

17Nʼamuddamu nti, “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo eri Mukama Katonda wo nti, ‘Sulemaani mutabani wo yʼalirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era yʼalituula ku ntebe yange eyʼobwakabaka.’

18Naye kaakano Adoniya alidde obwakabaka, newaakubadde mukama wange kabaka, tokimanyi.

19Asse ente, nʼebyassava nʼendiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna, ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu omukulu wʼeggye, naye Sulemaani omuddu wo tamuyise.

20Kaakano mukama wange kabaka, amaaso ga Isirayiri gatunuulidde gwe, okubategeeza anaatuula ku ntebe yʼobwakabaka eya mukama wange kabaka, oluvannyuma lwe.

21Bwʼotookole bwʼotyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bwʼolyebakira awamu ne bajjajjaabo, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa babi.”

22Awo bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi nʼayingira.

23Ne babuulira kabaka nti, “Nasani nnabbi ali wano.” Awo nʼayingira mu maaso ga kabaka, era nʼavuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.

24Nasani nʼayogera nti, “Mukama wange, wagamba nti Adoniya yʼalirya obwakabaka oluvannyuma lwo, era yʼalituula ku ntebe yo?

25Olwa leero aserengese, era asse ente, nʼebyassava nʼendiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna nʼabakulu bʼeggye ne Abiyasaali kabona. Mu kiseera kino balya era banywera wamu naye, nga boogera nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’

26Naye nze omuddu wo, ne Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nʼomuddu wo Sulemaani, tatuyise.

27Kino mukama wange kabaka, okikoze nʼototegeeza baweereza bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka eyʼobwakabaka, oluvannyuma lwe?”

28Awo Kabaka Dawudi nʼaddamu nti, “Muyite Basuseba.” Basuseba nʼajja awali kabaka nʼayimirira mu maaso ge.

29Awo kabaka nʼalayira ngʼayogera nti, “Nga Mukama bwʼali omulamu eyannunula mu buli kabi konna;

30era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo yʼalirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era yʼalituula ku ntebe yange eyʼobwakabaka mu kifo kyange.”

31Awo Basuseba nʼavuunama ku ttaka mu maaso ga kabaka ngʼagamba nti, “Mukama wange Kabaka Dawudi awangaale emirembe gyonna!”

32Kabaka Dawudi nʼayogera nti, “Muyite Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada bayingire.” Bwe bajja mu maaso ga kabaka,

33nʼabagamba nti, “Mutwale abaweereza[3] ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange, mumuserengese e Gikoni.

34Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. Mufuuwe ekkondeere era muleekaane nti, ‘Kabaka Sulemaani awangaale.’

35Mwambuke naye, atuule ku ntebe yange eyʼobwakabaka era afuge mu kifo kyange. Mmufudde omukulembeze wa Isirayiri ne Yuda.”

36Benaya mutabani wa Yekoyaada nʼaddamu kabaka nti, “Amiina! Mukama Katonda wa mukama wange kabaka akituukirize.

37Mukama nga bwe yabeeranga ne mukama wange kabaka, abeere ne Sulemaani okufuula entebe ye eyʼobwakabaka eyʼekitiibwa nʼokusinga entebe eyʼobwakabaka eya mukama wange Kabaka Dawudi!”

38Awo Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, nʼAbakeresi nʼAbaperesi[4] ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi, ne baserengeta nga bamuwerekera okugenda e Gikoni.

39Zadooki kabona nʼaggya ejjembe eryʼamafuta mu weema,[5] nʼafuka amafuta ku Sulemaani. Awo ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne baleekaana mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Kabaka Sulemaani awangaale.”

40Abantu bonna ne bambuka okumugoberera nga bafuuwa endere, era nga basanyuka essanyu lingi, ettaka nʼokwatika ne lyatika olwʼoluyoogaano olunene.

41Adoniya nʼabagenyi be bonna ne bawulira oluyoogaano bwe baali nga bamaliriza okulya. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi lyʼekkondeere, nʼabuuza nti, “Ekibuga nga kiyoogaana?”

42Awo bwe yali ngʼakyayogera laba, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona nʼatuuka. Adoniya nʼayogera nti, “Yingira kubanga omusajja omulungi nga ggwe ateekwa kuba ngʼaleese mawulire malungi.”

43Yonasaani nʼaddamu nti, “Nedda. Mukama waffe Kabaka Dawudi, obwakabaka abuwadde Sulemaani,

44era kabaka atumye Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, nʼAbakeresi nʼAbaperesi, okugenda naye nga bamwebagazza ennyumbu ya kabaka.

45Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni, era bambuse okuvaayo nga bajaguza, nʼekibuga kiwuumira ddala. Okwo kwe kuleekaana kwe muwulira.

46Kaakano Sulemaani atudde ku ntebe eyʼobwakabaka.

47Nʼabakungu ba kabaka bazze okusanyukirako mukama waffe Kabaka Dawudi, nga boogera nti, ‘Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu nʼokusinga eriryo era nʼentebe ye eyʼobwakabaka enkulu nʼokusinga eyiyo!’ Era Kabaka akutamye ngʼasinza ku kitanda kye,

48nʼagamba nti, ‘Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isirayiri, akkirizza amaaso gange okulaba omusika ku ntebe yange eyʼobwakabaka leero.’ ”

49Abagenyi ba Adoniya bonna olwawulira ebyo ne beekanga nnyo, ne basituka ne basaasaana.

50Adoniya nʼaggwaamu amaanyi olwa Sulemaani okulya obwakabaka, era nʼagenda ne yeekwata ku mayembe gʼekyoto.

51Awo ne babuulira Sulemaani nti, “Adoniya atidde kabaka Sulemaani era yeekutte ku mayembe gʼekyoto. Agambye nti, ‘Kabaka Sulemaani andayirire leero nti tajja kutta muddu we nʼekitala.’ ”

52Sulemaani nʼaddamu nti, “Bwʼalyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe na lumu oluligwa wansi; naye bwʼalirabikamu ekibi, alifa.”

53Awo Kabaka Sulemaani nʼatuma abasajja, ne baggya Adoniya ku kyoto. Nʼajja nʼavuunamira kabaka Sulemaani, Sulemaani nʼamugamba nti, “Weddireyo ewuwo.”

>