1 Bassekabaka 10:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Awo kabaka omukazi owʼe Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani nʼokwagala kwe yalina eri Mukama, nʼajja amugezese nʼebibuuzo ebizibu.

2Yatuuka mu Yerusaalemi, nʼekibiina kyʼabantu ekinene ennyo, nʼeŋŋamira ezaali zeetisse ebyakaloosa, ne zaabu ennyingi ennyo, nʼamayinja agʼomuwendo. Yanyumya ne Sulemaani ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe.

3Awo Sulemaani nʼaddamu ebibuuzo byonna, era tewaali na kimu ku byo ekyamuzibuwalira.

4Kabaka omukazi owʼe Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani ago gonna, nʼolubiri lwe yazimba,

5nʼemmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, nʼengeri abakungu be gye baatuuzibwangamu, nʼennyambala yʼabaddu be, nʼabasenero be, nʼebiweebwayo ebyokebwa bye yawangayo mu yeekaalu ya Mukama, ne yeewunya nnyo.

6Nʼamugamba nti, “Bye nawulira nga ndi mu nsi yange, ku ebyo byʼokoze nʼamagezi go, bya mazima.

7Ssakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe neesitukira ne nzija neerabireko nʼagange. Kya mazima ddala nabulirwako kitundu butundu kyokka; kubanga amagezi go, nʼobugagga bwo bisinga ku ebyo bye nawulira.

8Abasajja bo nga beesiimye! Nʼabakungu abayimirira mu maaso go ne bawulira ebigambo ebyʼamagezi nga beesiimye!

9Yeebazibwe Mukama Katonda wo akusanyukira era akutadde ku ntebe eyʼobwakabaka bwa Isirayiri. Olwʼokwagala kwa Mukama okutaggwaawo, akufudde kabaka, okukuuma obwenkanya nʼobutuukirivu.”

10Nʼagabira kabaka ttani nnya eza zaabu, nʼebyakaloosa bingi nnyo nnyini, nʼamayinja agʼomuwendo. Tewaaleetebwa nate byakaloosa byenkana awo obungi ngʼebyo kabaka omukazi owʼe Seeba bye yawa Sulemaani.

11(Emmeeri za Kiramu zaaleetanga zaabu okuva e Ofiri, nʼemitoogo mingi, era nʼamayinja agʼomuwendo.

12Kabaka yakozesa emitoogo okukola empagi za yeekaalu ya Mukama Katonda nʼezʼolubiri lwʼobwakabaka, nʼokukola ennanga, nʼentongooli zʼabayimbi. Tewalabikanga mitoogo mingi bwe gityo nʼokutuusa ku lunaku lwa leero.)

13Awo kabaka Sulemaani nʼawa kabaka omukazi owʼe Seeba byonna bye yayagala ne bye yasaba, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa okuva ku byobugagga bwʼobwakabaka bwe. Oluvannyuma kabaka omukazi owʼe Seeba nʼaddayo mu nsi ye nʼekibiina kyʼabantu be, be yajja nabo.

14Obuzito obwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwali ttani amakumi abiri mu ssatu,

15nga tobaliddeeko musolo ogwawebwangayo abasuubuzi nʼabʼebyamaguzi, ate era nʼogwasoloozebwanga okuva ku bakabaka Abawalabu bonna ne bagavana.

16Kabaka Sulemaani yaweesa engabo ennene ebikumi bibiri mu zaabu, buli ngabo ngʼerimu kilo ssatu nʼekitundu eza zaabu.

17Yakola nʼengabo entono ebikumi bisatu, nga nazo za zaabu, buli ngabo nga ya kilo emu nʼekitundu eza zaabu. Ezo zonna kabaka yaziterekanga mu lubiri olwazimbibwa mu miti egyava mu kibira kya Lebanooni.

18Awo kabaka nʼakola entebe eyʼobwakabaka ennene ddala nga ya masanga nʼagibikkako zaabu ennongoose.

19Entebe eyʼobwakabaka yalina amadaala mukaaga, waggulu waayo aweesigamwa nga weekulungirivu. Eruuyi nʼeruuyi wʼentebe waaliyo empologoma nga ziyimiridde ku mabbali gʼemikono.

20Empologoma kkumi na bbiri zaali ku madaala mukaaga, eruuyi mukaaga nʼeruuyi mukaaga. Tewaali ntebe ndala yonna eyʼobwakabaka eyali ekoleddwa eri ngʼeyo mu bwakabaka obulala bwonna mu biseera ebyo.

21Ebikompe byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, ne byonna ebyali mu lubiri lwe olwakolebwa mu kibira kya Lebanooni. Tewali kyakolebwa mu ffeeza, kubanga ffeeza teyali ya muwendo nnyo mu biro ebyo.

22Kabaka yalina ebyombo ebya maguzi ku nnyanja ebyakozesebwanga awamu nʼebya Kiramu, ebyaleetanga zaabu, ne ffeeza, nʼamasanga, nʼenkobe nʼenkima eza buli ngeri omulundi gumu mu buli myaka esatu.

23Kabaka Sulemaani yalina obugagga bungi nnyo nnyini, nʼamagezi mangi nnyo okusinga bakabaka abalala bonna ku nsi.

24Ensi yonna yanoonyanga era yeesunganga okulaba ku Sulemaani nʼokuwuliriza amagezi, Katonda ge yamuwa.

25Buli mwaka, buli omu eyajjanga okumukyalira, yamuleeteranga ekirabo, oluusi yabeeranga zaabu ne ffeeza, oluusi ngoye, oluusi byakulwanyisa, oluusi byakaloosa, oluusi mbalaasi nʼennyumbu.

26Sulemaani yakuŋŋaanya embalaasi nʼamagaali, era yalina amagaali lukumi mu bina, nʼabeebagazi bʼembalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yakuumiranga mu bibuga omwakuumirwanga amagaali, ne mu Yerusaalemi okumpi naye.

27Kabaka nʼafuula ffeeza okuba ngʼamayinja aga bulijjo mu Yerusaalemi, nʼemivule nʼagifuula okuba ngʼemisukamooli egiri mu biwonvu olwʼobungi bwagyo.

28Embalaasi za Sulemaani zaagulibwanga mu Misiri.

29Eggaali zaagulibwanga kilo musanvu eza ffeeza, na buli mbalaasi ngʼegulibwa kilo emu nʼekitundu eza ffeeza mu Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka abʼAbakiiti ne bakabaka abʼe Busuuli.

e>