1Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, nʼAbamoni, nʼAbayedomu, nʼAbasidoni, nʼAbakiiti, ngʼokwo kwʼogasse muwala wa Falaawo,
2nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ngʼalabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala.
3Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, nʼabakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya.
4Mu bisera bya Sulemaani ebyʼobukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala.
5Nʼatanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi owʼAbasidoni, ne Mirukomu katonda owʼomuzizo owʼAbamoni.
6Sulemaani nʼakola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama nʼatagobererera ddala Mukama, nʼatakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
7Sulemaani nʼazimba ebifo ebigulumivu ku kasozi
8Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo nʼabakolera bwʼatyo.
9Mukama nʼasunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri.
10Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama.
11Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olwʼempisa zo, nʼobutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo.
12Naye olwa Dawudi kitaawo, ekyo sirikikola mu biro byo, ndikikola, mutabani wo atandise okufuga.
13Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, nʼolwa Yerusaalemi, kye neerondera.”
14Awo Mukama nʼayimusiza Sulemaani omulabe erinnya lye Kadadi Omwedomu, owʼolulyo olulangira mu Edomu.
15Emabegako Dawudi bwe yali alwana ne Edomu, Yowaabu omuduumizi wʼeggye eyali agenze okuziika Abayisirayiri abaali battiddwa, yasigalayo nʼatta abasajja bonna mu Edomu.
16Yowaabu nʼAbayisirayiri bonna be yagenda nabo ne babeera eyo okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe baasaanyaawo abasajja bonna mu Edomu.
17Naye Kadadi, ngʼakyali mulenzi, yaddukira e Misiri nʼabakungu abamu Abayedomu abaweerezanga kitaawe.
18Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani okugenda e Palani. Ne bafuna abasajja okuva mu Palani, ne bagenda e Misiri, ewa Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri, eyamuwa ennyumba ne ttaka, era nʼamuwanga nʼemmere eyʼokulya.
19Awo Kadadi nʼalaba ekisa mu maaso ga Falaawo nʼokumuwa nʼamuwa mulamu we, muganda wa Tapenesi kaddulubaale, okumufumbirwa.
20Muganda wa Tapenesi nʼazaalira Kadadi omwana wabulenzi nʼamutuuma Genubasi, era Tapenesi nʼamutwala mu lubiri okumulabirira. Genubasi nʼakulira eyo wamu nʼabaana ba Falaawo.
21Kadadi bwe yali mu Misiri, nʼawulira nti Dawudi yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nga ne Yowaabu omuduumizi wʼeggye yafa, nʼagamba Falaawo nti, “Ka nzireyo ewaffe mu nsi yange.”
22Falaawo nʼamubuuza nti, “Kiki kyʼotofunye wano, ekikwagaza okuddayo mu nsi yo?” Kadadi nʼamuddamu nti, “Tewali, naye nzikiriza ŋŋende.”
23Katonda nʼayimusiza Sulemaani, omulabe omulala, erinnya lye Lezoni mutabani wa Eriyada, eyali adduse ku mukama we Kadadezeri kabaka wʼe Zoba.
24Dawudi bwe yatta eggye lyʼe Zoba, Lezoni nʼakuŋŋaanya abasajja abajeemu nʼafuuka mukulu waabwe, nʼaddukira e Ddamasiko, nʼakiwamba, nʼabeera eyo nga gyʼafugira.
25Yali mulabe wa Isirayiri ennaku zonna ezʼobulamu bwa Sulemaani, ngʼokwo kwʼotadde emitawaana Kadadi gye yaleetera Isirayiri. Lezoni nʼaddukira mu Alamu, era nʼabeera mulabe wa Isirayiri omuzibu ennyo.
26Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu owʼe Zereda, nnyina nga ye nnamwandu wa Zeruwa, ate nga yʼomu ku bakungu ba Sulemaani, nʼajeemera kabaka.
27Eno yʼengeri gye yajeemeramu kabaka: Sulemaani yali azimbye obusenge obuwagika, ngʼazibye ebituli ebyali mu bbugwe owʼekibuga kya Dawudi kitaawe.
28Yerobowaamu yali musajja mwesimbu, era Sulemaani bwe yalaba omulimu gwe omulungi, nʼamusiima nʼamufuula omukulu wʼemirimu gyonna egyʼamaanyi mu nnyumba ya Yusufu.
29Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ngʼava mu Yerusaalemi, nʼasisinkana Akiya nnabbi wʼe Siiro ngʼayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale.
30Akiya nʼaddira ekyambalo kye nʼakiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri.
31Nʼagamba Yerobowaamu nti, “Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bwʼatyo bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Laba, ŋŋenda kuggya ku Sulemaani obwakabaka, nkuweeko ebika kkumi.
32Naye olwʼomuddu wange Dawudi nʼekibuga Yerusaalemi, kye neerondera mu bika byonna ebya Isirayiri, alisigazaako ekika kimu.
33Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi owʼAbamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.
34“ ‘Naye Sulemaani sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimuleka nga yʼafuga ennaku zonna ezʼobulamu bwe olwʼomuddu wange Dawudi, gwe nalonda era eyagondera amateeka nʼebiragiro byange.
35Ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Sulemaani, ne nkuwa ebika kkumi.
36Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga nʼettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olwʼerinnya lyange.
37Wabula, ggwe ndikutwala, era olifuga wonna omutima gwo gye gulisiima, era olibeera kabaka wa Isirayiri.
38Bwʼonoogonderanga byonna bye nkulagira nʼotambuliranga mu makubo gange, era nʼokolanga ebituufu mu maaso gange ngʼokugonderanga ebiragiro nʼamateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika ekyʼenkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri.
39Kyendiva nzikakkanya ezzadde lya Dawudi, naye si bbanga lyonna.’ ”
40Sulemaani nʼagezaako okutta Yerobowaamu, naye Yerobowaamu nʼaddukira e Misiri, ewa Sisaki
41Ebyo byonna ebyabaawo ku mulembe gwa Sulemaani, ne byonna bye yakola, nʼamagezi ge yalaga, byawandiikibwa mu bitabo ebyʼebyafaayo ebya Sulemaani.
42Sulemaani yafuga Isirayiri yonna ngʼali mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana.
43Nʼafa nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Awo Lekobowaamu mutabani we nʼamusikira.