1 Bassekabaka 12:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Lekobowaamu nʼalaga e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka.

2Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yawulira ekyo, ngʼali e Misiri, gye yali yeewaŋŋangusirizza, nʼakomawo.

3Abantu ne batumira Yerobowaamu, ye nʼekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bagenda ewa Lekobowaamu, ne bamugamba nti,

4“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye kaakano wewula ku mirimu emizibu ne ku kikoligo ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.”

5Lekobowaamu nʼabaddamu nti, “Mumpe ebbanga lya nnaku ssatu, nʼoluvannyuma nnaabaddamu.” Abantu ne beetambulira.

6Awo kabaka Lekobowaamu nʼagenda ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani, mu biseera bwe yali ngʼakyali mulamu. Nʼababuuza nti, “Mumpa magezi ki, ku nsonga abantu bano gye bansabye?”

7Ne bamuddamu nti, “Leero bwʼonoobeera omuwulize eri abantu bano ne weetoowaza, nʼobaweereza, era nʼobaddamu nʼeggonjebwa, kale banaabeeranga baweereza bo.”

8Naye Lekobowaamu nʼatawuliriza magezi abakadde ge baamuwa, nʼagenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, era nga be bamuweereza.

9Nʼababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu abasabye okuwewula ku kikoligo kitange kye yabateekako?”

10Abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abo abakusabye nti, ‘Okendeeze ku kikoligo kitaawo kye yabateekako nti, “Engalo yange eya nasswi esinga ekiwato kya kitange obunene.

11Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nnaabakangavvulanga nʼenjaba ezʼobusagwa.” ’ ”

12Oluvannyuma lwʼennaku ssatu, Yerobowaamu nʼabantu bonna, ne baddayo eri Lekobowaamu, nga bwe yali abagambye okudda oluvannyuma lwʼennaku essatu.

13Awo kabaka nʼaddamu abantu nʼebboggo, nʼagaana amagezi abakadde ge baamuwa,

14nʼagoberera agʼabavubuka, nʼayogera nti, “Kitange yafuula ekikoligo kyammwe okuba ekizito, naye nze nnaayongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nno nze nnaabakangavvula na njaba ezʼobusagwa.”

15Kabaka nʼatawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ngʼayita mu Akiya Omusiiro.

16Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi, oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese? Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri! Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.” Awo Abayisirayiri[29] ne beddirayo ewaabwe.

17Naye abaana ba Isirayiri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, ne bafugibwa Lekobowaamu.

18 Lekobowaamu yalagira Adolaamu eyakuliranga emirimu egyʼobuwaze okugenda eri Abayisirayiri, okubalagira ebyʼokukola, naye ne bamukuba amayinja ne bamutta. Naye ye Kabaka Lekobowaamu nʼawona, nʼalinnya eggaali lye nʼaddukira e Yerusaalemi.

19Bwʼatyo Isirayiri nʼajeemera ennyumba ya Dawudi nʼokutuusa leero.

20Abayisirayiri bonna bwe baawulira nti Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumira ajje eri ekibiina, ne bamutikkira okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyasigala nga kigoberera ennyumba ya Dawudi.

21Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi nʼakuŋŋaanya ennyumba ya Yuda yonna, nʼekika kya Benyamini, abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, okulwanagana nʼennyumba ya Isirayiri, asobole okweddiza obwakabaka.

22Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti,

23“Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, nʼennyumba ya Yuda yonna ne ya Benyamini, era nʼabantu bonna nti,

24‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Temwambuka kulwana ne baganda bammwe, Abayisirayiri. Buli omu ku mmwe addeyo eka kubanga kino nze nkisazeewo.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo ewaabwe, nga Mukama bwe yalagira.

25Awo Yerobowaamu nʼazimba Sekemu mu Efulayimu ensi eyʼensozi, era nʼabeera eyo. Eyo gye yava nʼagenda nʼazimba Penieri.

26Yerobowaamu ne yeerowooza munda ye nti, “Obwakabaka sikulwa nga budda mu nnyumba ya Dawudi!

27Abantu bano bwe banayambukanga okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi, olunaku olumu emitima gyabwe giyinza okukyukira mukama waabwe, Lekobowaamu, kabaka wa Yuda. Balinzita ne badda gyʼali.”

28Awo Kabaka Yerobowaamu nʼaweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. Nʼagamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.”

29Emu nʼagiteeka mu Beseri nʼendala mu Ddaani.

30Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka nʼokugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi kyʼennyana ekyali kiteekeddwa eyo.

31Yerobowaamu nʼazimba amasabo mu bifo ebigulumivu nʼalonda bakabona[30] ngʼabaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi.

32Nʼakola embaga ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano mu mwezi ogwʼomunaana, okufaanana nʼembaga ebeerawo mu Yuda, era nʼawaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ngʼawaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. Nʼassa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri.

33Ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano mu mwezi ogwʼomunaana gwe yeerondera, nʼawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kye yazimba e Beseri. Era nʼassaawo embaga Abayisirayiri gye baakuumanga, nʼayambukanga ne ku kyoto okuwaayo ebyokebwa.

e>