1 Bassekabaka 13:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1Omusajja wa Katonda nʼajja e Beseri okuva mu Yuda olwʼekigambo kya Mukama, nʼasanga Yerobowaamu ngʼayimiridde mu maaso gʼekyoto ngʼateekateeka okwotereza obubaane.

2Nʼayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka eri ekyoto olwʼekigambo kya Mukama ngʼagamba nti, “Ayi ekyoto, ekyoto! Kino Mukama kyʼagamba nti, ‘Omwana erinnya lye Yosiya alizaalibwa mu nnyumba ya Dawudi, ku ggwe kwʼaliweerayo bakabona abʼebifo ebigulumivu ngʼebiweebwayo era nʼamagumba gʼabantu galyokerwa ku ggwe.’ ”

3Ku lunaku olwo omusajja wa Katonda nʼawa akabonero: “Kano ke kabonero Mukama kalangirira. Ekyoto kiryatika nʼevvu lyakyo liriyiyibwa ebweru.”

4Awo kabaka Yerobowaamu bwe yawulira omusajja wa Katonda bye yayogera, nʼayogera nʼeddoboozi eddene ku kyoto e Beseri ngʼawanise omukono gwe mu maaso gʼekyoto nti, “Mumukwate!” Omukono gwe yawanika eri omusajja wa Katonda ne gukala ne gukalambalirayo nʼokuyinza nʼatayinza kuguzza.

5Nʼekyoto ne kyatikamu, nʼevvu ne liyiika ngʼakabonero omusajja wa Katonda ke yawa olwʼekigambo kya Mukama.

6Awo Kabaka nʼagamba omusajja wa Katonda nti, “Negayiririra Mukama Katonda wo, onsabire omukono gwange guwonyezebwe.” Omusajja wa Katonda nʼamwegayiririra eri Mukama, omukono gwe ne guddawo nga bwe gwali olubereberye.

7Kabaka nʼagamba omusajja wa Katonda nti, “Jjangu eka ewange obeeko kyʼolya, nʼokukuwa nkuweeyo ekirabo.”

8Naye omusajja wa Katonda nʼagamba kabaka nti, “Ne bwʼonompa ekitundu kyʼobugagga bwo, sijja kugenda naawe, wadde okulya omugaati oba okunywa amazzi wano.

9Kubanga nkuutiddwa ekigambo kya Mukama nti, ‘Tolya mugaati newaakubadde okunywa amazzi wadde okuddira mu kkubo lyʼojjiddemu.’ ”

10Awo nʼaddirayo mu kkubo eddala, so si mu eryo lye yajjiramu e Beseri.

11Awo mu biro ebyo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri, eyategeezebwa batabani be ebyo byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze ku lunaku olwo, ne bye yali agambye kabaka.

12Kitaabwe nʼababuuza nti, “Akutte kkubo ki?” Awo batabani be ne bamulaga ekkubo omusajja wa Katonda owʼe Yuda lyʼakutte.

13Awo nʼagamba batabani be nti, “Munteekereteekere endogoyi.” Bwe baamala okumutegekera endogoyi, nʼagyebagala,

14nʼakwata ekkubo omusajja wa Katonda lye yali akutte. Yamusanga atudde wansi wʼomwera, nʼamubuuza nti, “Gwe musajja wa Katonda eyavudde e Yuda?” Nʼaddamu nti, “Nze nzuuno.”

15Awo nnabbi nʼamugamba nti, “Tuddeyo eka olye ku mmere.”

16Omusajja wa Katonda nʼamuddamu nti, “Siyinza kuddayo newaakubadde okugenda naawe, wadde okulya omugaati oba okunywa amazzi naawe mu kifo kino.

17Ndagiddwa ekigambo kya Mukama nti, ‘Toteekwa kulyayo ku mmere newaakubadde okunywayo amazzi, wadde okuddirayo mu kkubo lye wajjiddemu.’ ”

18Awo nnabbi omukadde nʼamuddamu nti, “Nze nange ndi nnabbi nga ggwe. Era malayika yaŋŋambye ekigambo kya Katonda nti, ‘Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe ne ku mazzi.’ ” Naye yali amulimba.

19Awo omusajja wa Katonda nʼaddayo naye mu nnyumba ye nʼalya era nʼanywa.

20Bwe baali batudde nga balya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi omukadde eyali amukomezzaawo.

21Nʼayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Ojeemedde ekigambo kya Mukama era tokuumye kiragiro Mukama Katonda kye yakulagidde.

22Wakomyewo nʼolya emmere era nʼonywa amazzi mu kifo kye yakugaanye okulyamu wadde okunywamu amazzi. Noolwekyo omulambo gwo teguliziikibwa mu ntaana ya bajjajjaabo.’ ”

23Omusajja wa Katonda bwe yamala okulya nʼokunywa, nnabbi oli eyali amukomezzaawo, nʼategeka endogoyi yʼomusajja wa Katonda.

24Awo bwe yali ngʼali ku lugendo lwe, empologoma nʼemusangiriza nʼemutta, era nʼesuula omulambo gwe ku kkubo, empologoma nʼendogoyi ne biyimirira okumpi nagwo.

25Laba, abantu abamu abaalaba omulambo nga gusuuliddwa wansi, nga nʼempologoma eyimiridde kumpi nagwo, ne bagenda mu kibuga nnabbi mwe yabeeranga ne bategeeza abaayo.

26Nnabbi eyali amukomezzaawo bwe yakiwulira nʼayogera nti, “Ye musajja wa Katonda ataagondedde kigambo kya Mukama. Mukama amuwaddeyo eri empologoma emutaagudde nʼemutta, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyʼamulabudde.”

27Awo nnabbi nʼagamba batabani be nti, “Muntegekere endogoyi.” Ne bagimutegekera.

28Nagenda nʼasanga omulambo gwʼomusajja wa Katonda nga gusuuliddwa mu kkubo nʼendogoyi nʼempologoma nga ziyimiridde kumpi nagwo; empologoma nga teridde mulambo so nga tetaaguddetaagudde ndogoyi.

29Nnabbi nʼasitula omulambo gwʼomusajja wa Katonda nʼaguteeka ku ndogoyi, era nʼaguzzaayo mu kibuga kye nʼamukungubagira, omulambo nʼaguziika.

30Nʼateeka omulambo gwe mu ntaana ye ye, ne bamukungubagira nga bakaaba nti, “Woowe, muganda wange!”

31Awo bwe baamala okumuziika, nʼagamba batabani be nti, “Bwe nfanga, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda mwʼaziikiddwa; muteekanga amagumba gange kumpi nʼamagumba ge.

32Ekigambo kya Mukama, omusajja wa Katonda kye yayogera nʼeddoboozi eryʼomwanguka ku kyoto ekiri mu Beseri ne ku masabo agʼebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga ebyʼe Samaliya, tekirirema kutuukirira.”

33Oluvannyuma lwʼekigambo ekyo Yerobowaamu nʼatakyuka kuleka amakubo ge amabi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona abʼebifo ebigulumivu ngʼabaggya mu bantu abaabulijjo. Buli eyayagalanga okubeera kabona, nʼamwawulanga okubeera mu bifo ebigulumivu.

34Kino kye kyali ekibi kyʼennyumba ya Yerobowaamu ekyagireetera okugwa, okugimalawo nʼokugizikiriza okuva ku nsi.

e>