1Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu nʼalwala,
2Yerobowaamu nʼagamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bwʼoli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka wʼabantu bano ali eyo.
3Twala emigaati kkumi, ne bukeeke, nʼensumbi eyʼomubisi gwʼenjuki, ogende gyʼali era ye alikubuulira omwana bwʼaliba.”
4Awo muka Yerobowaamu nʼakola bwʼatyo, nʼagenda ewa Akiya e Siiro.
5Naye Mukama yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bwʼanajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bwʼajja okumuddamu, nga bwʼanaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala.
6Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, nʼamugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gyʼoli nʼamawulire amabi.
7Genda ogambe Yerobowaamu nti Kino Mukama, Katonda wa Isirayiri kyʼagamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri.
8Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ngʼomuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era nʼabigoberera nʼomutima gwe gwonna, ngʼakola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange.
9Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, nʼokola nʼebifaananyi ebisaanuuse nʼonneerabira; onsunguwazizza nnyo.
10“ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu nʼatali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ngʼomuntu bwʼayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala.
11Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, nʼennyonyi ezʼomu bbanga zirirya egyʼabo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama yʼakyogedde!’
12“Wabula ggwe, ddayo eka. Bwʼonooba wakalinnya ekigere mu kibuga kyo, omulenzi anaafa.
13Isirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka owʼennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu Mukama Katonda wa Isirayiri, gwʼalabyemu akalungi.
14“Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isirayiri alisaanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu mu kiseera ekitali kyʼewala nnyo.
15Mukama aliva ku Isirayiri, abeere ngʼekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, nʼabasaasaanyiza emitala wʼOmugga,
16Era aliva ku Isirayiri olwʼebibi bya Yerobowaamu nʼebyo byʼayonoonesezza Isirayiri.”
17Awo muka Yerobowaamu nʼagolokoka okugenda e Tiruza. Olwayingira mu nnyumba yaabwe, omulenzi nʼafa.
18Ne bamuziika, era Isirayiri yonna ne bamukungubagira ngʼekigambo kya Mukama kye yayogerera mu nnabbi Akiya bwe kyali.
19Nʼebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, nʼokufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyʼomu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
20Yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri, oluvannyuma ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Nadabu mutabani we nʼamusikira, nʼalya obwakabaka.
21Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani nʼalya obwakabaka bwa Yuda, ngʼalina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olwʼerinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni.
22Yuda ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa Mukama obuggya.
23Beezimbira ebifo ebigulumivu nʼempagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi.
24Era waaliwo nʼabaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga ebyʼemizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso gʼAbayisirayiri bye baakolanga.
25Mu mwaka ogwokutaano ogwʼobufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka wʼe Misiri nʼalumba Yerusaalemi.
26Nʼatwala ebyʼobugagga ebyʼomu yeekaalu ya Mukama, nʼebyobugagga ebyʼomu lubiri lwa kabaka byonna, ngʼokwo kwʼotadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.
27Awo kabaka Lekobowaamu nʼakola engabo ezʼebikomo okuzzaawo ziri, era nʼazikwasa abaduumizi bʼabambowa abaakuumanga wankaaki wʼolubiri lwa kabaka.
28Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge kyʼabambowa we zaaterekebwanga.
29Ebyafaayo ebirala byonna ebyʼomulembe gwa Lekobowaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
30Waabangawo entalo ezʼolubeerera wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu.
31Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu