1Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼomunaana ogwʼobufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu
2Yafugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Nnyina ye yali Maaka muwala wa Abusaalomu.
3Nʼakola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga Mukama Katonda we ngʼomutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali.
4Naye ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we nʼamuteerawo ettabaaza mu Yerusaalemi era nʼayimusa ne mutabani we okumusikira, era nʼokunyweza Yerusaalemi.
5Dawudi yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nʼagondera ebiragiro bya Mukama ennaku zonna ezʼobulamu bwe, okuggyako ensonga ya Uliya Omukiiti.
6Ne wabangawo entalo wakati wʼennyumba ya Lekobowaamu nʼennyumba ya Yerobowaamu ennaku zonna ezʼobulamu bwa Abiyaamu.
7Nʼebyafaayo ebirala byonna ebyʼokufuga kwa Abiyaamu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu.
8Awo Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we nʼamusikira, nʼalya obwakabaka.
9Awo mu mwaka ogwʼamakumi abiri ogwʼobufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Asa nʼalya obwakabaka bwa Yuda.
10Yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana mu gumu. Jjajjaawe omukazi nga ye Maaka muwala wa Abusaalomu.
11Asa nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.
12Nʼagoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga, era nʼaggyawo nʼebifaananyi ebyakolebwa nʼemikono byonna bajjajjaabe bye baakola.
13Era nʼagoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa nʼagitema era nʼagyokera ku kagga Kidulooni.
14Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna.
15Nʼayingiza mu yeekaalu ya Mukama effeeza, ne zaabu nʼebintu ebirala kitaawe bye yawaayo ne Asa yennyini bye yawaayo.
16Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri ennaku zonna ezʼokufuga kwabwe.
17Baasa kabaka wa Isirayiri nʼalumba Yuda nʼazingiza Laama obutaganya muntu nʼomu okufuluma wadde okuyingira mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda.
18Awo Asa nʼaddira effeeza ne zaabu yonna eyali esigadde mu ggwanika lya yeekaalu ya Mukama nʼeyʼolubiri lwe, nʼabikwasa abakungu be, nʼabiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni, muzzukulu wa Keziyoni, eyali kabaka wa Busuuli ngʼafugira e Ddamasiko.
19Nʼayogera nti, “Wabeewo endagaano wakati wo nange, ngʼeyaliwo wakati wa kitaawo ne kitange. Laba nkuweereza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu, omenyewo kaakano endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”
20Benikadadi nʼakkiriziganya ne kabaka Asa era nʼaweereza abaduumizi bʼeggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri. Nʼakuba Iyoni, ne Ddaani, ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna ngʼokwo kwʼotadde Nafutaali.
21Awo Baasa bwe yakiwulira nʼalekeraawo okuzimba Laama, nʼaddukira e Tiruza.
22Kabaka Asa nʼawa ekiragiro mu Yuda yonna nga kikwata ku buli muntu. Ne batwala amayinja agʼe Laama nʼembaawo Baasa bye yazimbisanga, kabaka Asa nʼabizimbisa Geba ekya Benyamini, ne Mizupa.
23Ebyafaayo ebirala byonna ebyʼomu mirembe gya Asa, nʼobuwanguzi bwe era nʼebibuga bye yazimba, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Kyokka mu bukadde bwe, nʼalwala ebigere.
24Awo Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe nʼaziikibwa mu kibuga kya jjajjaawe Dawudi. Yekosafaati, mutabani we nʼamusikira, nʼalya obwakabaka.
25Nadabu mutabani wa Yerobowaamu nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogwʼobufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri.
26Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼatambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona.
27Awo Baasa mutabani wa Akiya owʼomu nnyumba ya Isakaali nʼamukolera olukwe, nʼamuttira e Gibbesoni ekibuga kyʼAbafirisuuti, Nadabu ne Isirayiri yenna bwe baali bakitaayizza.
28Baasa nʼatta Nadabu mu mwaka ogwokusatu ogwʼobufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, ye nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri.
29Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, nʼatta ennyumba ya Yerobowaamu yonna nʼatalekaawo muntu nʼomu omulamu. Yabazikiriza bonna ngʼekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro,
30olwʼebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonyesa Isirayiri, nʼokusunguwaza ne bisunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri.
31Ebyafaayo ebirala ebyʼomu mirembe gya Nadabu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
32Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri, ennaku zonna ezʼokufuga kwabwe.
33Awo mu mwaka ogwokusatu ogwʼobufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya nʼafuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era nʼafugira emyaka amakumi abiri mu ena.
34Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼatambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.