1 Bassekabaka 16:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Baasa nti,

2“Nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula mukulembeze wʼabantu bange Isirayiri, naye watambulira mu ngeri za Yerobowaamu era nʼoyonoonyesa abantu bange Isirayiri, ne bansunguwaza nʼebibi byabwe.

3Laba, ndisaanyizaawo ddala Baasa nʼennyumba ye, era ndifuula ennyumba ye okuba ngʼeya Yerobowaamu mutabani wa Nebati.

4Omuntu yenna owa Baasa bwʼalifiira mu kibuga, omulambo gwe guliriibwa embwa, nʼabo abalifiira ku ttale, ennyonyi ezʼomu bbanga zirirya emirambo gyabwe.”

5Ebyafaayo ebirala ebyʼomu mirembe gya Baasa, bye yakola, awamu nʼebintu ebirungi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

6Awo Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe nʼaziikibwa e Tiruza, mutabani we Era nʼamusikira, nʼalya obwakabaka.

7Ekigambo kya Mukama ne kituukirira, ekyajjira Yeeku mutabani wa Kanani ekikwata ku Baasa nʼennyumba ye olwʼebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, ngʼamusunguwaza olwʼebyo bye yakola, nʼolwʼokwonoona ngʼafaanana ennyumba ya Yerobowaamu, ate era nʼolwʼokuba nga yagisaanyaawo.

8Mu mwaka ogwʼamakumi abiri mu omukaaga ogwʼobufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa nʼafuuka kabaka wa Isirayiri; nʼafugira mu Tiruza emyaka ebiri.

9Awo Zimuli, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekitundu kyʼamagaali ge, nʼamukolera olukwe. Mu kiseera ekyo Era yali Tiruza, ngʼatamiirira mu maka ga Aluza, omusajja eyavunaanyizibwanga olubiri lwʼe Tiruza.

10Mu kiseera ekyo, Zimuli nʼayingira nʼamukuba nʼamutta, nʼoluvannyuma nʼalya obwakabaka. Gwali mwaka ogwʼamakumi abiri mu omusanvu ogwʼobufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda.

11Awo olwatuuka nga kyajje atuule ku ntebe eyʼobwakabaka nʼatta abantu bʼennyumba ya Baasa bonna, obutalekaawo musajja nʼomu wa luganda lwa Baasa wadde mikwano gye.

12Bwʼatyo Zimuli nʼasaanyaawo ennyumba ya Baasa yonna, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa ngʼayita mu nnabbi Yeeku,

13olwʼebibi bya Baasa ne mutabani we Era bye baakola nʼokwonoonyesa Isirayiri, nga basunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa.

14Ebyʼafaayo ebirala ebyʼomu mirembe gya Era, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo kyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

15Mu mwaka ogwʼamakumi abiri mu omusanvu ogwʼobufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli nʼafugira e Tiruza ennaku musanvu. Eggye lyali lisiisidde okumpi ne Gibbesoni ekibuga kyʼAbafirisuuti.

16Ku lunaku olwo Abayisirayiri abaali mu nkambi bwe baawulira nti Zimuli yasala olukwe, nʼatta kabaka, Isirayiri yonna ne balangirira Omuli omuduumizi wʼeggye okuba kabaka wa Isirayiri.

17Omuli nʼAbayisirayiri bonna abaali awamu naye ne bava e Gibbesoni ne bambuka okuzingiza Tiruza.

18Zimuli bwe yalaba ngʼekibuga kiwambiddwa, nʼaddukira mu lubiri olwʼomunda, olubiri lwonna nʼalukumako omuliro. Nʼafiira omwo.

19Ekyo kyamutuukako olwʼebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, nʼokutambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye yakola, ne bye yayonoonyesa Isirayiri.

20Ebyʼafaayo ebirala ebyʼomu mirembe gya Zimuli, nʼobujeemu bwe, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

21Abantu ba Isirayiri ne baawukanamu ebibiina bibiri, ekitundu ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okuba kabaka, nga nʼekitundu ekirala kiwagira Omuli.

22Naye abagoberezi ba Omuli ne basinza aba Tibuni mutabani wa Ginasi amaanyi; Tibuni nʼafa, Omuli nʼafuuka kabaka.

23Mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu ogumu ogwʼobufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Omuli nʼalya obwakabaka obwa Isirayiri era nʼafugira emyaka kkumi nʼebiri, mukaaga ku gyo ngʼali mu Tiruza.

24Yagula olusozi lwʼe Samaliya ku Semeri, ekilo nsanvu eza ffeeza, nʼaluzimbako ekibuga, nʼakituuma Samaliya, okukibbulamu Semeri eyali nannyini lusozi.

25Naye Omuli nʼakola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama, era nʼayonoona nnyo okusinga nʼabo abaamusooka.

26Nʼatambulira mu ngeri zonna eza Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri era nʼasunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa.

27Ebyafaayo ebirala ebyʼomu mirembe gya Omuli, ne bye yakola, ne byʼobuzira bye, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

28Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe nʼaziikibwa mu Samaliya; Akabu nʼamusikira, nʼalya obwakabaka.

29Mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu omunaana ogwʼobufuzi bwa Asa Kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuli nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri, nʼafugira Isirayiri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri.

30Akabu mutabani wa Omuli nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama okusinga bonna abaamusooka.

31Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era nʼawasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka wʼAbasidoni, era nʼatandika okuweereza nʼokusinza Baali.

32Yazimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya.

33Akabu nʼakola nʼempagi ya Baaseri, ne yeeyongera nnyo okusunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, okusinga bakabaka abalala bonna aba Isirayiri abaamusooka.

34Ku mirembe gya Akabu, Kyeri Omubeseri nʼaddaabiriza era nʼazimba Yeriko. Era olwʼekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Yoswa mutabani wa Nuuni, Kyeri bwe yassaawo emisingi gyakyo, nʼafiirwa Abiraamu mutabani we omukulu; bwe yazimba wankaaki waakyo, Segubi mutabani we asembayo obuto naye nʼafa.

e>