1 Bassekabaka 17:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Eriya Omutisubi owʼe Tisubi mu Gireyaadi, nʼagamba Akabu nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza nga bwʼali omulamu, tewaabe musulo newaakubadde enkuba mu myaka egijja wabula olwʼekigambo kyange.”

2Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nga kigamba nti,

3“Vva wano ogende ebuvanjuba weekweke ku kagga Kerisi akoolekera Yoludaani.

4Ojja kunywanga mu kagga, era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.”

5Nʼakola nga Mukama bwe yamulagira, nʼalaga ku kagga Kerisi, akoolekera Yoludaani, nʼabeera eyo.

6Bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere nʼennyama buli nkya na buli kawungeezi, era nʼanywanga mu kagga.

7Bwe waayitawo ebbanga, akagga ne kakalira olwʼobutabaawo nkuba mu nsi.

8Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti,

9“Situkiramu ogende e Zalefaasi ekya Sidoni obeere eyo. Ndagidde nnamwandu ali eyo okukuwanga emmere.”

10Awo nʼagolokoka nʼalaga e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku wankaaki wʼekibuga, waliwo nnamwandu eyali alondalonda obuku. Eriya nʼamusaba ngʼagamba nti, “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi matono mu kibya nnyweko.”

11Bwe yali ngʼagenda okugakima, Eriya nʼamukoowoola ngʼagamba nti, “Nkwegayiridde, ndeeteraayo nʼomugaati.”

12Nʼaddamu nti, “Mukama nga bwʼali omulamu, sirina mugaati okuggyako olubatu lwʼobutta mu kibya nʼotufuta mu kasumbi, era kaakano nkuŋŋaanya buku mbutwale eka neefumbire nze nʼomwana wange tubulye tufe.”

13Eriya nʼamugamba nti, “Totya. Genda eka okole nga bwʼogambye. Naye sooka onfumbire akagaati, okuva mu byʼolina okandeteere, oluvannyuma weefumbire ggwe nʼomwana wo.

14Kubanga kino Mukama Katonda wa Isirayiri kyʼagamba nti, ‘Ekibya kyʼobutta tekiriggwaamu, so nʼakasumbi kʼamafuta tekalikalira okutuusa olunaku Mukama lwʼalitonyesa enkuba ku nsi.’ ”

15Nʼagenda nʼakola nga Eriya bwe yamugamba, era ne waba emmere bulijjo eya Eriya ne nnamwandu nʼamaka ge.

16Ekibya kyʼobutta tekyakendeera wadde akasumbi kʼamafuta okukalira, ngʼekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali.

17Bwe waayitawo ebbanga, omwana wa nnamwandu nʼalwala nnyo, obulwadde ne bweyongera okutuusa lwe yafa.

18Nnamwandu nʼagamba Eriya nti, “Kiki kyʼonnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange nʼokutta omwana wange?”

19Eriya nʼamuddamu nti, “Mpa omwana wo.” Nʼamuggya mu kifuba kye, nʼamusitula nʼamutwala mu kisenge ekya waggulu[32] gye yabeeranga, nʼamugalamiza ku kitanda kye.

20Nʼakoowoola Mukama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, ne nnamwandu ono gwe mbeera naye omuleeseko ekikangabwa kino, nʼotta omwana we?”

21Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, nʼakaabira Mukama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bwʼomulenzi ono bukomewo nate!”

22Mukama nʼawulira okukaaba kwa Eriya, obulamu bwʼomulenzi ne bumuddamu, era nʼalama.

23Awo Eriya nʼasitula omwana nʼamuserengesa okuva mu kisenge nʼamuleeta mu nnyumba, nʼamuwa nnyina, nʼamugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!”

24Awo nnamwandu nʼagamba Eriya nti, “Kaakano ntegedde ngʼoli musajja wa Katonda, era nʼekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.”

e>