1Awo nga wayiseewo ebbanga lya myaka essatu kasookedde enkuba ebula, ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nti, “Genda weerage eri Akabu, omutegeeze nti nditonnyesa enkuba ku nsi.”
2Awo Eriya nʼagenda okweyanjula eri Akabu.
3Mu biro ebyo enjala ngʼennyinnyitidde nnyo mu Samaliya, Akabu nʼayita Obadiya omukulu wʼolubiri eyali assaamu ennyo Mukama ekitiibwa.
4Olwali olwo nga Yezeberi atandika okutta bannabbi bonna aba Mukama, Obadiya nʼaddira bannabbi kikumi nʼabakweka mu mpuku bbiri buli emu ngʼerimu amakumi ataano ataano, nʼabaweeranga omwo emmere nʼamazzi.
5Akabu nʼamugamba nti, “Tuuka buli wantu awali enzizi ezʼamazzi nʼawali obugga bwonna, oboolyawo tunaafuna omuddo ne tuwonya embalaasi zaffe nʼennyumbu okufa, tuleme okufiirwa ensolo zonna.”
6Ne beeyawulamu bombi okubuna ensi, Akabu nʼakwata ekkubo lye ne Obadiya nʼakwata erirye.
7Awo Obadiya bwe yali ngʼali ku lugendo lwe, Eriya nʼamusisinkana. Obadiya bwe yamutegeera nʼavuunama wansi nʼagamba nti, “Ddala ggwe wuuyo, mukama wange Eriya?”
8Nʼaddamu nti, “Ye nze. Genda ogambe mukama wo nti, ‘Eriya ali wano.’ ”
9Obadiya nʼamugamba nti, “Kiki kye nkusobezza, okutuma omuddu wo eri Akabu ajja okunzita?
10Mukama Katonda wo nga bwʼali omulamu, tewali ggwanga oba bwakabaka mukama wange gyʼatatumye mubaka kukunoonya. Era buli ggwanga, oba bwakabaka obwagambanga nti Toliiyo, yabalayizanga okukakasa nti tobangayo.
11Kaakano oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange njogere nti, ‘Eriya ali wano.’
12Simanyi Mwoyo wa Mukama gyʼanaakutwala nga kyenzije nveewo. Bwe nnaagenda ne ntegeeza Akabu nʼatakusangawo, ajja kunzita, ate nga nze omuddu wo okuva mu buto bwange, nsinza Mukama.
13Mukama wange totegeezebwanga, kye nakola nga Yezeberi atta bannabbi ba Mukama? Nakweka kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku bbiri, ataano ataano mu buli mpuku, era ne mbawa emigaati okulya nʼamazzi okunywa.
14Kaakano, oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange mugambe nti, ‘Eriya ali wano.’ Ajja kunzita!”
15Eriya nʼamugamba, “Nga Mukama owʼEggye bwʼali omulamu, gwe mpeereza, siireme kweraga eri Akabu leero.”
16Awo Obadiya nʼagenda okusisinkana Akabu, nʼamutegeeza; Akabu nʼajja okusisinkana Eriya.
17Akabu bwe yalaba Eriya, nʼamubuuza nti, “Ggwe wuuyo, gwe ateganya Isirayiri?”
18Eriya nʼaddamu nti, “Sinnateganya Isirayiri, naye ggwe nʼennyumba ya kitaawo, muvudde ku biragiro bya Mukama ne mugoberera ba Baali.
19Kaakano kuŋŋaanya abantu bonna okuva mu Isirayiri yonna bajje ku lusozi Kalumeeri era oleete ne bannabbi ba Baali ebikumi ebina mu ataano wamu ne bannabbi ba Baaseri ebikumi ebina, abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.”
20Awo Akabu nʼatumira abantu ba Isirayiri bonna, era nʼakuŋŋaanya ne bannabbi bonna ku lusozi Kalumeeri.
21Awo Eriya nʼayimirira mu maaso gʼabantu nʼayogera nti, “Mulituusa wa okutta aganaaga? Obanga Mukama ye Katonda mumugoberere, naye obanga Baali ye Katonda mugoberere oyo.”
22Eriya nʼabagamba nti, “Nze nsigaddewo nzekka ku bannabbi ba Mukama, naye Baali alina bannabbi ebikumi bina mu ataano.
23Kale mutuwe ente ennume bbiri, bo beerobozeeko emu, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, naye tebagikumamu. Nange naalongoosa eyookubiri, ne ngiteeka ku nku naye sijja kuzikumamu muliro.
24Kale oluvannyuma mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, nange nnaakowoola erinnya lya Mukama; anaddamu nʼomuliro nga ye Katonda.”
25Eriya nʼagamba bannabbi ba Baali
26Ne batwala ente ebaweereddwa ne bagiteekateeka.
27Mu ssaawa ezʼomu ttuntu Eriya nʼatandika okubaduulira, ngʼayogera nti, “Muleekaane nnyo! Katonda ddala! Osanga ali mu birowoozo bingi, oba aliko ebimutawaanya, oba ali ku lugendo. Ayinza okuba nga yeebase, nga yeetaaga kumuzuukusa.”
28Ne baleekaana nnyo nga bwe beesala nʼobwambe ne beefumita nʼamafumu ngʼempisa yaabwe bwe yali, okutuusa omusaayi lwe gwabakulukuta.
29Obudde bwali buyise nnyo, naye ne beeyongera okulagula kwabwe okutuusa ekiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi. Ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna, wadde assaayo omwoyo.
30Awo Eriya nʼalyoka agamba abantu bonna nti, “Musembere kumpi nange.” Bonna ne bamusemberera, nʼaddaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa.
31Nʼaddira amayinja kkumi nʼabiri, buli limu nʼaliteeka ku linnaalyo ngʼebika bya Yakobo bwe byali, Mukama gwe yayogerako nti, “Erinnya lye linaabanga Isirayiri.”
32Nʼazimba ekyoto mu linnya lya Mukama nʼamayinja ago, nʼasima olusalosalo okwetooloola ekyoto, ngʼalugyamu lita kkumi na ttaano ezʼamazzi.
33Nʼatindikira enku, nʼatemaatema ente, nʼagiteekako. Nʼalyoka abagamba nti, “Mujjuze ebibya bina amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ne ku nku.”
34Nʼabagamba baddemu bakole bwe batyo omulundi ogwokubiri, ne bakiddamu, ate era nʼabagamba okuddamu omulundi ogwokusatu ne baddamu ogwokusatu nga bwe yalagira.
35Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto, nʼokujjula ne gajjula olusalosalo.
36Mu kiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi, nnabbi Eriya nʼasembera mu maaso nʼasaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti Ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olwʼekigambo kyo.
37Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti Ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gyʼoli.”
38Omuliro gwa Mukama ne gulyoka gugwa ne gwokya ekiweebwayo, nʼenku, nʼamayinja, nʼettaka, ne gumalirawo ddala nʼamazzi mu lusalosalo.
39Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!”
40Eriya nʼalyoka abalagira nti, “Mukwate bannabbi ba Baali, waleme okuba nʼomu abaddukako.” Ne babakwata, Eriya nʼabaserengesa ku kagga Kisoni, nʼabattira eyo.
41Eriya nʼagamba Akabu nti, “Genda olye, nʼokunywa onywe; kubanga waliwo okubwatuka kwʼenkuba eyʼamaanyi.”
42Awo Akabu nʼagenda okulya nʼokunywa, naye Eriya nʼalinnya ku ntikko yʼolusozi Kalumeeri, nʼakutama, nʼateeka omutwe gwe wakati wʼamaviivi ge.
43Nʼagamba omuweereza we nti, “Yambuka, olengere okwolekera ennyanja.”
44Ku mulundi ogwʼomusanvu omuweereza nʼakomawo nʼagamba nti, “Laba, ekire ekitono ekyenkana ngʼomukono gwʼomuntu kyambuka okuva mu nnyanja.”
45Mu kiseera kyekimu, eggulu ne libindabinda, kibuyaga ne yeeyongera, enkuba eyʼamaanyi nʼejja, Akabu nʼayolekera e Yezuleeri.
46Amaanyi ga Mukama ne gakka ku Eriya ne yeesiba ekimyu, nʼadduka ngʼakulembedde Akabu okutuuka e Yezuleeri.