1Awo Akabu nʼabuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola, ne bwe yatta bannabbi bonna nʼekitala.
2Yezeberi nʼatumira Eriya omubaka okumugamba nti, “Bakatonda bankole bwe batyo nʼokukirawo, bwe siifuule obulamu bwo okuba ngʼobulamu bwʼomu ku bo, essaawa nga zino enkya.”
3Eriya nʼatya nnyo, nʼadduka okuwonya obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeruseba mu Yuda, nʼaleka eyo omuweereza we.
4Naye ye nʼatambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, nʼatuuka awali omwoloola, nʼatuula wansi waagwo, nʼasaba afe. Nʼayogera nti, “Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange.”
5Nʼagalamira wansi wʼomwoloola ne yeebaka.
6Nʼagolokoka, laba ngʼemitwetwe we waliwo akasumbi kʼamazzi nʼomugaati omwokye. Nʼalya nʼanywa, nʼaddamu nʼagalamira.
7Malayika wa Mukama nʼakomawo omulundi ogwokubiri nʼamukomako nʼamugamba nti, “Golokoka olye, kubanga olugendo lunene.”
8Awo nʼagolokoka nʼalya, nʼanywa, nʼafuna amaanyi, era nʼatambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana nʼekiro, okutuuka e Kolebu
9Bwe yatuuka eyo, nʼayingira mu mpuku, nʼasula omwo. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, “Okola ki wano, Eriya?”
10Nʼaddamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda owʼEggye ne nkwatibwa nʼobuggya ku lulwe. Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo nʼekitala. Nze nsigaddewo nzekka, ne kaakano bannoonya okunzita.”
11Mukama nʼamugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo.” Kale laba, embuyaga nnyingi eyʼamaanyi nʼemenya ensozi nʼeyasa nʼenjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lwʼembuyaga, musisi owʼamaanyi nʼayita naye era Mukama nga taliimu.
12Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lwʼomuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa.
13Eriya bwe yaliwulira, nʼabikka
14Nʼaddamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda owʼEggye, naye Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenyeemenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo nʼekitala. Nze nsigaddewo nzeka, ne kaakano bannoonya okunzita.”
15Mukama nʼamugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bwʼonootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka wʼe Busuuli,
16ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke nʼamafuta ku Erisa mutabani wa Safati owʼe Aberumekola okudda mu kifo kyo.
17Era Yeeku anatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Kazayeeri, ate Erisa ye nʼatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Yeeku.
18Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera.”
19Awo Eriya nʼava eyo nʼasisinkana Erisa mutabani wa Safati ngʼalima nʼemigogo gyʼente kkumi nʼebiri, ye ngʼalimisa ogwʼekkumi nʼebiri. Eriya nʼagenda gyʼali nʼamusuulako omunagiro gwe.
20Erisa nʼaleka ente ze, nʼadduka ngʼagoberera Eriya. Nʼamugamba nti, “Ka nsibule kitange ne mmange, ndyoke ŋŋende naawe.”
21Awo Erisa nʼamulekako akabanga, nʼaddayo, nʼagenda nʼasala omugogo gwʼente, ennyama nʼagifumbisa ebiti byʼenkumbi, nʼagabira abantu ne balya. Awo nʼagolokoka nʼagoberera Eriya era nʼamuweerezanga.