1 Bassekabaka 2:1-46 LGCB2014 - Bible AI

1Dawudi bwe yali anaatera okufa, nʼabuulirira mutabani we Sulemaani ngʼamukuutira nti,

2“Nze ŋŋenda bonna abʼomu nsi gye bagenda, kale beera nʼamaanyi era nʼobuvumu,

3era tambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda wo ngʼokwatanga ebiragiro bye, era okwatenga amateeka ge, nʼebiragiro bye nʼebyo byʼayagala, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke obeerenga nʼomukisa mu byonna byʼonookolanga na buli gyʼonoogendanga yonna.

4Mukama anyweze ekisuubizo kye gye ndi nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu kkubo lyabwe, era bwe banaatambuliranga mu maaso gange mu mazima nʼomutima gwabwe gwonna nʼemmeeme yaabwe yonna, tewalibaawo muntu ku ntebe eyʼobwakabaka bwa Isirayiri atali wa mu zzadde lyo.’ ”

5 “Ate ojjukiranga Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abakulu ababiri abʼeggye lya Isirayiri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri nʼayiwa omusaayi gwabwe mu biseera ebyʼemirembe ngʼeyali mu lutalo, era omusaayi gwabwe ne gumansukira olukoba lwe olwali mu kiwato nʼengatto ze ezaali mu bigere bye.

6Kale muyise ngʼokutegeera kwo bwe kuli, so tomuganyanga kukka emagombe mirembe mu bukadde bwe.”

7 “Naye batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi obakoleranga ebyekisa, era babenga ku abo abanaatuulanga ku mmeeza yo, kubanga baali wamu nange bwe nadduka Abusaalomu muganda wo.”

8 “Era jjukira Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini owʼe Bakulimu ali naawe, kubanga yankolimira mu ngeri enzibu ennyo, ku lunaku lwe nagenderako e Makanayimu. Kyokka bwe yaserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mulayirira Mukama nti, ‘Sijja kukutta na kitala.’

9Kaakano tomubala ngʼataliiko musango. Oli musajja wa magezi, era olimanya ekirikugwanira okumukola; tomuganyanga okukka emagombe mu mirembe mu bukadde bwe.”

10Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi.

11 Yafugira Isirayiri yonna emyaka amakumi ana, ngʼafugira emyaka musanvu e Kebbulooni, nʼemyaka amakumi asatu mu esatu e Yerusaalemi.

12 Awo Sulemaani nʼatuula ku ntebe eyʼobwakabaka bwa Dawudi kitaawe, obwakabaka bwe ne bunywezebwa nnyo.

13Adoniya omwana wa Kaggisi, nʼalaga eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba nʼamubuuza nti, “Ojja mirembe?” Nʼaddamu nti, “Weewaawo mirembe.”

14Nʼayogera nate nti, “Nnina kye njagala okukubuulira.” Basuseba nʼamuddamu nti, “Kimbuulire.”

15Adoniya nʼamugamba nti, “Nga bwʼomanyi, obwakabaka bwali bwange, era ne Isirayiri yenna baatunuulira nze nga kabaka waabwe. Naye ebintu byakyuka, era nʼobwakabaka bugenze eri muganda wange, kubanga bumuweereddwa Mukama.

16Kaakano nkusaba ekigambo kimu, era tokinnyima.” Basuseba nʼamugamba nti, “Kyogere.”

17 Adoniya nʼayogera nti, “Nkwegayiridde gamba Sulemaani kabaka ampe Abisaagi Omusunammu okuba mukyala wange, kubanga kabaka anaakuwuliriza.”

18Basuseba nʼaddamu nti, “Kale, nnaakwogererayo eri Kabaka.”

19Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka nʼagolokoka okumusisinkana, nʼakutama nʼoluvannyuma nʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka. Nʼatumya entebe eyʼobwakabaka endala nnyina atuuleko[6], nʼatuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo.

20Basuseba nʼamugamba nti, “Nkusaba ekigambo kimu ekitono, era tokinnyima.” Kabaka nʼamuddamu nti, “Kisabe, maama, nange siikikumme.”

21Nʼayogera nti, “Kkiriza Abisaagi Omusunammu afumbirwe muganda wo Adoniya.”

22Kabaka Sulemaani nʼaddamu nnyina nti, “Lwaki osabira Adoniya, Abisaagi Omusunammu? Musabire nʼobwakabaka, ate obanga ye mukulu wange; kyʼekyo, sabira ye, ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya!”

23Awo Kabaka Sulemaani nʼalayira ngʼagamba nti, “Katonda ankole bwʼatyo nʼokusingawo, Adoniya bwʼatasasule nʼobulamu bwe olwʼekyo kyʼasabye!

24Kale nga Mukama bwʼali omulamu, oyo annywezezza ku ntebe eyʼobwakabaka eya kitange Dawudi, era ampadde olulyo nga bwe yasuubiza, Adoniya anattibwa leero!”

25Awo Kabaka Sulemaani nʼalagira Benaya mutabani wa Yekoyaada okutta Adoniya, era Adoniya nʼattibwa.

26 Kabaka nʼagamba Abiyasaali kabona nti, “Ggwe genda e Anasosi mu byalo byo. Osaanidde okufa, naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama mu maaso ga kitange Dawudi, era nʼobonyaabonyezebwa wamu naye mu bibonoobono bye.”

27 Awo Sulemaani nʼagoba Abiyasaali[7] ku bwakabona bwa Mukama, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogerera e Siiro ku nnyumba ya Eri.

28Amawulire bwe gaatuuka eri Yowaabu, eyali akyuse okugoberera Adoniya, newaakubadde nga teyagoberera Abusaalomu, nʼaddukira mu weema ya Mukama, nʼakwata ku mayembe gʼekyoto.

29Bwe baategeeza kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu weema ya Mukama, era nti ali ku kyoto, nʼalagira Benaya mutabani wa Yekoyaada nti, “Genda omutte.”

30Benaya nʼagenda mu weema ya Mukama, nʼagamba Yowaabu nti, “Kabaka akulagidde okufuluma.” Naye ye nʼaddamu nti, “Nedda, nzija kufiira wano.” Benaya nʼazzaayo obubaka eri kabaka, nga Yowaabu bwe yamuddamu.

31Awo kabaka nʼalagira Benaya nti, “Kola nga bwʼayogedde, omutte era omuziike oggyewo omusango ku nze ne ku nnyumba ya kitange olwʼomusaayi Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga.

32Era Mukama alimusasula olwʼomusaayi gwe yayiwa, kubanga yagwa ku basajja babiri nʼabatta nʼekitala, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu wʼeggye lya Isirayiri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu wʼeggye lya Yuda, kitange Dawudi nʼatakimanya, ate nga baali bamusinga obutuukirivu nʼobulungi.

33Bwe gutyo omusango gwʼomusaayi gwabwe gubeere ku mutwe gwa Yowaabu ne ku zzadde lye emirembe gyonna. Naye ku Dawudi ne ku zzadde lye, era ne ku nnyumba ye ne ku ntebe ye eyʼobwakabaka, wabeerewo emirembe gya Mukama emirembe gyonna.”

34Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada nʼayambuka nʼatta Yowaabu, nʼaziikibwa mu ttaka lye[8] mu ddungu.

35Awo kabaka nʼafuula Benaya mutabani wa Yekoyaada omukulu wʼeggye mu kifo kya Yowaabu, nʼafuula ne Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali.

36Kabaka nʼatumya Simeeyi nʼamugamba nti, “Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi obeere omwo, so tovangamu okugenda awantu wonna.

37Olunaku lwʼolivaayo nʼosomoka ekiwonvu Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa, era omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.”

38Simeeyi nʼaddamu Kabaka nti, “Kyʼoyogedde kirungi. Omuddu wo ajja kukola nga mukama wange kabaka bwʼayogedde.” Awo Simeeyi nʼamala ekiseera kiwanvu mu Yerusaalemi.

39Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu ba Simeeyi ne baddukira eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka wʼe Gaasi[9]. Simeeyi nʼategeezebwa nti, “Abaddu bo bali Gaasi.”

40Simeeyi olwawulira ebyo, ne yeebagala endogoyi ye nʼagenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be. Simeeyi nʼagenda okuleeta abaddu be okuva e Gaasi.

41Bwe baabuulira Sulemaani nti Simeeyi yava e Yerusaalemi nʼagenda e Gaasi era nʼakomawo,

42kabaka nʼamutumya, nʼamubuuza nti, “Saakulayiza Mukama ne nkulabula nti, ‘Tegeerera ddala nga olunaku lwʼolivaawo okugenda awantu wonna, olifa?’ Nʼoŋŋamba nti, ‘Kye njogedde kirungi era nzija kukigondera.’

43Kale kiki ekyakulobera okwekuuma ekirayiro kya Mukama nʼekiragiro kye nakulagira?”

44Awo kabaka nʼagamba Simeeyi nti, “Omanyi mu mutima gwo obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange. Kaakano Mukama alikusasula olwʼobubi bwo.

45Naye kabaka Sulemaani aliweebwa omukisa, ne ntebe ya Dawudi eyʼobwakabaka erinywezebwa mu maaso ga Mukama emirembe gyonna.”

46Kabaka nʼalagira Benaya mutabani wa Yekoyaada, okutta Simeeyi. Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.

>