1Awo Benikadadi kabaka wʼe Busuuli nʼakuŋŋaanya eggye lye lyonna wamu ne bakabaka amakumi asatu mu babiri nʼembalaasi nʼamagaali gaabwe, bonna ne bambuka okuzingiza Samaliya nʼokulwana nakyo.
2Nʼatuma ababaka mu kibuga eri Akabu kabaka wa Isirayiri ngʼagamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Benikadadi nti,
3‘Effeeza yo ne zaabu yo byange ate era ne bakyala bo abasinga obulungi nʼabaana bo nabo bange.’ ”
4Kabaka wa Isirayiri nʼaddamu nti, “Nga bwʼogambye, mukama wange kabaka, nze ne bye nnina byonna bibyo.”
5Ababaka ne baddayo ewa Akabu nate ne bamugamba nti, “Kino Benikadadi kyʼagamba nti, ‘Natuma nga njagala ffeeza yo ne zaabu yo, nʼabakyala bo nʼabaana bo.
6Naye olunaku lwʼenkya essaawa nga zino nzija kuweereza abakungu bange banoonyeemu mu lubiri lwo ne mu nnyumba zʼabakungu bo, era bajja kutwala ebibyo byonna ebyʼomuwendo.’ ”
7Awo kabaka wa Isirayiri nʼayita abakadde bonna abʼensi, nʼabagamba nti, “Mulabe omusajja ono bwʼanoonya emitawaana! Bwe yatumya bakyala bange nʼabaana bange wamu ne ffeeza yange ne zaabu yange, sabimumma.”
8Abakadde nʼabantu bonna ne bamuddamu nti, “Tomuwuliriza wadde okukkiriziganya naye.”
9Awo kabaka nʼaddamu ababaka ba Benikadadi nti, “Mutegeeze mukama wange kabaka nti, ‘Omuddu wo nzija kukola byonna bye walagidde ku ntandikwa, naye kino ekyʼoluvannyuma siyinza kukikola.’ ”
10Awo Benikadadi nʼaweereza obubaka obulala eri Akabu nti, “Bakatonda bankole bwe batyo nʼokukirawo, enfuufu ya Samaliya bwe teebune mu bibatu byʼabasajja bonna abangoberera.”
11Kabaka wa Isirayiri nʼamuddamu nti, “Mumugambe nti, ‘Eyeesiba ebyokulwanyisa aleme okwenyumiriza ngʼoyo abyesumulula.’ ”
12Benikadadi bwe yawulira obubaka obwo, ngʼali mu kutamiira ne bakabaka abalala mu weema zaabwe, nʼalagira abasajja be nti, “Mweteeketeeke okulumba.” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga.
13Mu kiseera ekyo ne wabaawo nnabbi eyajja eri Akabu kabaka wa Isirayiri nʼalangirira nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Olaba eggye lino eddene? Nzija kulikuwa mu mukono gwo leero, otegeere nga nze Mukama.’ ”
14Akabu nʼabuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi nʼaddamu nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Abavubuka bo abʼabaduumizi bʼamasaza, bajja kukubeera.’ ”
15Awo Akabu nʼayita abavubuka abʼabaduumizi bʼamasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era nʼakuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000).
16Ne batabaala mu ttuntu nga Benikadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri be yali alagaanye nabo bali mu kutamiira.
17Abavubuka bʼabaduumizi bʼamasaza be baasooka okulumba.
18Nʼayogera nti, “Bwe baba bazze na mirembe, mubawambe, ne bwe baba nga baze ku lutalo, era mubawambe.”
19Abavubuka bʼabaduumizi bʼamasaza ne bafuluma ne balumba okuva mu kibuga, nga nʼeggye libagoberera.
20Buli omu ku bo nʼatta gwe yayolekera. Abasuuli ne badduka, nga nʼAbayisirayiri bwe babagoba, naye Benikadadi kabaka wʼe Busuuli nʼawonera ku mbalaasi nʼabamu ku basajjabe abeebagala embalaasi.
21Awo kabaka wa Isirayiri nʼabagobera ddala era nʼawamba embalaasi nʼamagaali, era Abasuuli bangi ne bafa.
22Awo ebyo nga biwedde, nnabbi nʼagenda eri kabaka wa Isirayiri nʼamugamba nti, “Weenyweze, olabe ekiteekwa okukolebwa, kubanga omwaka ogunaddirira kabaka wʼe Busuuli ajja kukulumba nate.”
23Mu kiseera ekyo, abakungu ba kabaka wʼe Busuuli ne bamuwa amagezi nti, “Bakatonda bʼAbayisirayiri bakatonda ba nsozi, era kyebavudde batusinza amaanyi. Naye bwe tunaabalwanyisizza mu lusenyi, mazima ddala tunaabasinza amaanyi.
24Kola bwʼoti, ggyawo bakabaka bonna mu bifo byabwe ebyʼokuduumira, osseewo abaduumizi abalala.
25Oteekwa okufuna eggye eryʼenkana liri lye wafiirwa, embalaasi edde mu kifo kyʼembalaasi, nʼeggaali mu kifo kyʼeggaali, tulyoke tulwane nabo mu lusenyi, olwo tunaabasinzizza ddala amaanyi.” Nʼabawuliriza era nʼakola bwʼatyo.
26Omwaka ogwaddirira Benikadadi nʼakuŋŋaanya Abasuuli, nʼayambuka mu Afeki okulwana ne Isirayiri.
27Awo abantu ba Isirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne baweebwa entanda yaabwe, ne bagenda okubasisinkana. Abayisirayiri ne basiisira okuboolekera ne bafaanana ngʼebisibo bibiri ebitono ebyʼembuzi, naye Abasuuli ne babuna ensi yonna.
28Awo omusajja wa Katonda nʼasembera, nʼagamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Olwʼokuba Abasuuli balowooza nga Mukama Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo, otegeere nga nze Mukama.’ ”
29Ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu, ku lunaku olwʼomusanvu ne balumbagana. Abayisirayiri ne batta abaserikale abʼebigere Abasuuli emitwalo kkumi mu lunaku lumu.
30Abalala ne baddukira mu kibuga Afeki, era eyo bbugwe wʼekibuga ekyo gye yagwira ku bantu emitwalo musanvu ku baali bawonyeewo.
31Abakungu be ne bamugamba nti, “Laba, tuwulidde nti bakabaka bʼennyumba ya Isirayiri, ba kisa, twesibe ebibukutu mu biwato byaffe, tuzingirire emige ku mitwe gyaffe tugende ewa kabaka wa Isirayiri, oboolyawo anaakusaasira.”
32Ne beesiba ebibukutu mu biwato byabwe, ne bazingirira emige ku mitwe gyabwe, ne balaga ewa kabaka wa Isirayiri, ne bamugamba nti, “Omuddu wo Benikadadi agamba nti, ‘Nkwegayiridde tonzita.’ ” Kabaka nʼababuuza nti, “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.”
33Abasajja ne balowooza nti ako kabonero kalungi, era ne banguwa okwogera nti, “Weewaawo, muganda wo Benikadadi.” Kabaka nʼayogera nti, “Mugende mumuleete.” Benikadadi bwe yavaayo, Akabu nʼamuleetera mu gaali lye.
34Awo Benikadadi nʼagamba nti, “Ndikuddiza ebibuga kitange bye yawamba ku kitaawo, era olyessizaawo obutale obubwo ggwe mu Ddamasiko, nga kitange bwe yakola mu Samaliya.” Akabu nʼaddamu nti, “Nzija kukuleka ogende nga tukoze endagaano.” Era ne bakola endagaano, nʼamuleka nʼagenda.
35Omu ku batabani ba bannabbi nʼagamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite nʼekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo nʼagaana.
36Mutabani wa nnabbi nʼayogera nti, “Olwʼobutagondera ddoboozi lya Mukama, bwʼonooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, nʼasanga empologoma era nʼemutta.
37Mutabani wa nnabbi nʼasanga omusajja omulala, nʼamugamba nti, “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja nʼamufumita nʼamuleetako ekiwundu.
38Awo nʼagenda nʼalindirira kabaka mu kkubo, ne yeebuzaabuza ngʼabisse ekiremba kye ku maaso ge.
39Kabaka bwe yali ngʼayitawo, mutabani wa nnabbi nʼamukoowoola ngʼagamba nti, “Omuddu wo yagenze wakati mu lutalo, ne wabaawo omuserikale eyandetedde omusibe nʼaŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bwʼanaabula ggwʼonottibwa mu kifo kye, oba si kyo oteekwa okusasula kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza.’
40Omuddu wo bwe yali ngʼatawaana erudda nʼerudda, laba omusajja nʼabula.”
41Awo mutabani wa nnabbi nʼayanguwa, okuggya ekiremba ku maaso ge, kabaka wa Isirayiri nʼamutegeera nga yʼomu ku bannabbi.
42Nʼagamba kabaka nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Otadde omusajja gwe namaliridde okutta. Noolwekyo ggwʼojja okufa mu kifo kye, nʼabantu bo bafe mu kifo kyʼabantu be.’ ”
43Kabaka wa Isirayiri nʼalaga mu lubiri lwe e Samaliya ngʼaswakidde era nga munyiivu.