1Awo ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo ensonga ekwata ku nnimiro ya Nabosi Omuyezuleeri, eyali eriraanye olubiri lwa Akabu kabaka wa Samaliya.
2Awo Akabu nʼagamba Nabosi nti, “Mpa ennimiro yo eyʼemizabbibu nnimiremu enva, nga bwʼeriraanye olubiri lwange. Mu kifo kyayo nzija kukuwaamu ennimiro eyʼemizabbibu endala, oba bwʼonoosiima, nnaakusasulamu omuwendo ogugigyamu.”
3Nabosi nʼamuddamu nti, “Kikafuuwe, nze okukuwa obusika bwa bajjajjange.”
4Awo Akabu nʼaddayo eka ngʼannyogoze nnyo era nga munyiivu kubanga Nabosi Omuyezuleeri yamugamba nti, “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” Nʼagalamira ku kitanda kye nga yeesooza, nʼagaana nʼokulya.
5Naye Yezeberi mukazi we nʼayingira, nʼamubuuza nti, “Lwaki onnyogoze nnyo bwʼotyo nʼokulya nʼotalya?”
6Nʼamuddamu nti, “Kubanga ŋŋambye Nabosi Omuyezuleeri antunze ennimiro ye eyʼemizabbibu, oba bwʼanaasiima muwaanyiseemu ennimiro endala. Naye agambye nti, ‘Sijja kukuwa nnimiro yange eyʼemizabbibu.’ ”
7Yezeberi mukazi we nʼamugamba nti, “Bwʼotyo bwe weeyisa nga kabaka wa Isirayiri? Golokoka olye! Ddamu amaanyi. Nzija kukufunira ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri.”
8Awo Yezeberi nʼawandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu, nʼagassaako akabonero ke, era nʼagaweereza eri abakadde nʼabakungu abaabeeranga mu kibuga kya Nabosi.
9Mu bbaluwa ezo nʼawandiika nti,
10era mutuuze abasajja babiri okumwolekera bamuwaayirize nti akolimidde Katonda ne kabaka. Oluvannyuma mumutwale ebweru mumukube amayinja, mumutte.”
11Awo abakadde nʼabakungu abaabeeranga mu kibuga ekyo ne bakola nga Yezeberi bwe yalagira mu mabaluwa ge yabawandiikira.
12Ne balangirira okusiiba era ne batuuza Nabosi mu kifo wʼalabikira obulungi mu bantu.
13Abasajja babiri ne bajja ne batuula okumwolekera ne bamuwaayiriza mu maaso gʼabantu nga bagamba nti, “Nabosi yakolimidde Katonda ne kabaka.” Awo abantu ne bamutwala ebweru wʼekibuga ne bamukuba amayinja ne bamutta.
14Ne batumira Yezeberi nti, “Nabosi akubiddwa amayinja era afudde.”
15Amangwago Yezeberi bwe yawulira nti Nabosi yakubibwa amayinja era nʼafa, nʼagamba Akabu nti, “Golokoka otwale ennimiro eyʼemizabbibu eya Nabosi Omuyezuleeri gye yagaana okukuguza, kubanga takyali mulamu, mufu.”
16Akabu bwe yawulira nti Nabosi afudde nʼagolokoka nʼaserengeta okutwala ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri.
17Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti,
18“Serengeta eri Akabu kabaka wa Isirayiri afugira mu Samaliya, kubanga laba ali mu nnimiro eyʼemizabbibu eya Nabosi era agenze okugitwala.
19Mugambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Tosse omusajja nʼokutwala nʼotwala obugagga bwe? Olyoke omugambe nti Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’ ”
20Akabu nʼagamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” Nʼamuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga Mukama.
21Mukama agamba nti, ‘Laba ndikuleetako akabi, ndimalawo ennyumba yo yonna, era ndiggya ku Akabu buli musajja yenna mu Isirayiri, omuddu nʼatali muddu.
22Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, nʼeya Baasa mutabani wa Akiya, olwʼokusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’
23
24Embwa ziririira omuntu yenna owa Akabu alifiira mu kibuga, ate ennyonyi zirye abo bonna abalifiira ku ttale.’ ”
25Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama ngʼawalirizibwa mukazi we Yezeberi.
26Yakola ebyʼekivve ngʼagoberera ebifaananyi byʼabakatonda, ngʼAbamoli
27Awo Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, nʼayuza engoye ze, nʼayambala ebibukutu nʼokusiiba nʼasiiba. Nʼagalamira mu bibukutu, era nʼatambula nga yeewombeese.
28Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti,
29“Olabye Akabu bwe yeewombeese mu maaso gange? Olwʼokubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.”