1 Bassekabaka 22:1-53 LGCB2014 - Bible AI

1Ne wataba ntalo wakati wa Busuuli ne Isirayiri okumala emyaka esatu.

2Naye mu mwaka ogwokusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda nʼaserengeta okugenda okukyalira kabaka wa Isirayiri.

3Kabaka wa Isirayiri yali agambye abaami be nti, “Mumanyi nti Lamosugireyaadi kyaffe, naye ate nga tetulina kye tukola wo okukiggya ku kabaka wa Busuuli?”

4Mu kiseera ekyo nʼabuuza Yekosafaati nti, “Onoogenda nange mu lutalo e Lamosugireyaadi?” Yekosafaati nʼaddamu kabaka wa Isirayiri nti, “Nze ndi nga bwʼoli abantu bange ngʼabantu bo, nʼembalaasi zange ngʼezizo.”

5Naye Yekosafaati nʼayongerako nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”

6Awo kabaka wa Isirayiri nʼakuŋŋaanya bannabbi awamu nga bawera ngʼebikumi bina, nʼababuuza nti, “Ŋŋende ntabaale e Lamosugireyaadi oba ndekeyo?” Ne baddamu nti, “Genda kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.”

7Naye Yekosafaati nʼabuuza nti, “Wano tewaliwo nnabbi wa Mukama gwe tuyinza kwebuuzaako?”

8Kabaka wa Isirayiri nʼaddamu Yekosafaati nti, “Wakyaliyo omusajja omu gwe tuyinza okwebuuzaako eri Mukama erinnya lye ye Mikaaya[38] mutabani wa Imula naye namukyawa kubanga tewali kirungi kyʼalagula ku nze, wabula ebibi.”

9Awo kabaka wa Isirayiri nʼalagira omu ku baami be nti, “Yanguwa mangu okuleeta Mikaaya mutabani wa Imula.”

10Awo Kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nga bambadde ebyambalo byabwe ebyʼobwakabaka era nga batudde ku ntebe zaabwe ezʼobwakabaka mu mulyango ogwa wankaaki we kibuga Samaliya, nga ne bannabbi bonna balagulira awo we baali;

11Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe agʼebyuma, nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Olisindikiriza Abasuuli ne gano okutuusa lwe balisaanyizibwawo.’ ”

12Bannabbi abalala bonna nabo baalagula kye kimu, nga boogera nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi obe muwanguzi kubanga Mukama ajja kukigabula mu mukono gwa kabaka.”

13Omubaka eyatumibwa okuleeta Mikaaya nʼamugamba nti, “Laba ebigambo bya bannabbi abalala biragula buwanguzi eri kabaka, kale ekigambo kyo nakyo kikkiriziganye nabyo, oyogere bulungi.”

14Naye Mikaaya nʼayogera nti, “Nga Mukama bwʼali omulamu, nzija kwogera ekyo kyokka Mukama kyʼanaŋŋamba.”

15Bwe yatuuka awali kabaka, kabaka nʼamubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” Nʼamuddamu nti, “Kirumbe obe muwanguzi kubanga Mukama anakigabula mu mukono gwa kabaka.”

16Kabaka nʼamubuuza nti, “Nnaakulayiza emirundi emeka okutegeeza amazima mu linnya lya Mukama?”

17Nnabbi nʼaddamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna ngʼesaasaanye ku nsozi, ngʼendiga ezitalina musumba.” Mukama nʼayogera nti, “Bano tebalina mukama waabwe, era buli omu ku bbo addeyo ewuwe mirembe.”

18Awo kabaka wa Isirayiri nʼagamba Yekosafaati nti, “Saakugambye nti, talina kirungi kyʼandagulako wabula ekibi?”

19Mikaaya nʼayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya Mukama nti Nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka nga nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono.

20Mukama nʼayogera nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu ayambuke okulumba Lamosugireyaadi afiire eyo?’ Omu ku bo nʼaddamu bulala, nʼomulala nʼaddamu bulala.

21Ku nkomerero ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nnaamusendasenda.’

22“Mukama nʼabuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogwʼobulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ Mukama nʼaddamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bwʼotyo.’

23“Kale nno, Mukama atadde omwoyo omulimba mu mimwa gya buli nnabbi wo era Mukama amaliridde okukusaanyaawo.”

24Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana nʼasembera nʼakuba Mikaaya oluyi ku ttama, nʼayogera nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko atya okwogera nawe?”

25Awo Mikaaya nʼaddamu nti, “Laba, ekyo onokimanya ku lunaku lwʼoligenda okwekweka mu kisenge ekyʼomunda.”

26Awo kabaka wa Isirayiri nʼalagira nti, “Mukwate Mikaaya, mumuzzeeyo ewa Amoni omukulu wʼekibuga, nʼeri Yowaasi mutabani wa kabaka,

27era mwogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera kabaka nti: muteeke omuntu ono mu kkomera, ate temumuwa ekintu kyonna okuggyako omugaati nʼamazzi okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ”

28Mikaaya nʼalangirira nti, “Bwʼolikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” Era nʼayongerako nti, “Mugenderere ebigambo byange, mmwe abantu mwenna.”

29Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi.

30Kabaka wa Isirayiri nʼagamba Yekosafaati nti, “Nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde omuntu omulala, naye ggwe oyambale ebyambalo ebyʼobwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula omuntu omulala nʼagenda mu lutalo.

31Kabaka wʼe Busuuli yali alagidde abaduumizi bʼamagaali nti “Temulwanagana na muntu yenna, kabe mutono oba mukulu, wabula kabaka wa Isirayiri yekka.”

32Awo abaduumizi bʼamagaali bwe baalaba Yekosafaati, ne balowooza nti, “Ddala ono ye kabaka wa Isirayiri.” Ne batanula okumulumba, naye Yekosafaati nʼaleekaanira waggulu,

33abaduumizi bʼamagaali ne bategeera nti si ye kabaka wa Isirayiri ne balekeraawo okumugoba.

34Awo omuntu omu nʼamala galasa akasaale ke, ne kakwata kabaka wa Isirayiri ebyambalo bye ebyʼebyuma we bigattira, nʼagamba omugoba wʼeggaali lye nti, “Kyusa eggaali onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa.”

35Olutalo ne lweyongerera ddala nnyo ku lunaku olwo, era kabaka ne bamukwatirira mu gaali lye nga litunuulaganye nʼAbasuuli. Omusaayi okuva mu kiwundu kye ne gukulukuta nnyo mu gaali, nʼoluvannyuma nʼafa.

36Enjuba bwe yali ngʼeneetera okugwa, ne waba ekirango ekyabuna mu ggye nti, “Buli muntu adde mu kibuga kyʼewaabwe, era buli muntu adde mu nsi yʼewaabwe!”

37Awo kabaka nʼafa nʼaleetebwa e Samaliya, era nʼaziikibwa eyo.

38Ne booleza eggaali lye awaali ekidiba kya Samaliya, bamalaaya we baanaabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyayogerwa.

39Ebyafaayo ebirala ebyʼomulembe gwa Akabu, nʼebyo bye yakola, nʼolubiri lwe yazimba nʼalulongoosa nʼamasanga, nʼebibuga bye yazimbako bbugwe, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

40Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Akaziya mutabani we nʼamusikira.

41Awo Yekosafaati mutabani wa Asa nʼatandika okufuga mu Yuda mu mwaka ogwʼamakumi ana ogwa Akabu kabaka wa Isirayiri.

42Yekosafaati yalina emyaka egyʼobukulu amakumi asatu mu etaano we yatandikira okufuga, era nʼafugira mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi abiri mu etaano. Nnyina erinnya lye ye yali Azuba muwala wa Siruki.

43Nʼatambulira mu ngeri za kitaawe Asa era nʼatazivaamu, ngʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, abantu ne beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka nʼokwokya obubaane.

44Yekosafaati nʼatabagana ne kabaka wa Isirayiri.

45Ebyafaayo ebirala ebyʼomulembe gwa Yekosafaati, ebintu bye yakola, nʼamaanyi ge mu ntalo, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

46Nʼaggyirawo ddala abaalyanga ebisiyaga abaali basigaddewo mu nsi, oluvannyuma lwʼomulembe gwa kitaawe Asa.

47Awo mu biro ebyo ne wataba kabaka mu Edomu, omusigire wa kabaka nʼafuga.

48Yekosafaati yali azimbye ekibinja ekyʼebyombo okugenda e Ofiri okukimangayo zaabu, naye ne bitasobola, kubanga byonna byabbira e Eziyonigeba.

49Mu kiseera ekyo Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yekosafaati nti, “Abasajja bange ka baseeyeeye nʼababo,” naye Yekosafaati nʼatakyagala.

50Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekolaamu mutabani we nʼamusikira.

51Awo Akaziya mutabani wa Akabu nʼalya obwakabaka kabaka bwa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogwʼekkumi nʼomusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era nʼafuga Isirayiri okumala emyaka ebiri.

52Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne yeeyisa nga kitaawe bwe yeeyisanga, era nga ne nnyina bwe yakolanga, ate era nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyaleetera Isirayiri okwonoona bwe yakolanga.

53Yaweereza era nʼasinza Baali, nʼasunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, mu ngeri zonna nga kitaawe bwe yakola.

e>