1Awo Sulemaani nʼakola endagaano ne Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri era nʼawasa muwala we. Nʼamuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye nʼennyumba ya Mukama, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi.
2Kyokka ennyumba ya Mukama yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo ebyʼenjawulo.
3Sulemaani nʼayagala Mukama, ngʼatambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ngʼayotereza nʼobubaane ku bifo ebigulumivu.
4Awo kabaka nʼagenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani nʼaweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi.
5Mukama nʼalabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda nʼamugamba nti, “Saba kyʼoyagala kyonna kye mba nkuwa.”
6Sulemaani nʼaddamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gyʼoli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gyʼoli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gyʼali nʼomuwa omwana okutuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka leero.
7Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto
8Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika.
9Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi nʼekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?”
10Mukama nʼasanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo.
11Katonda nʼamugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kwa balabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango,
12nʼakola kyʼosabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana.
13Era ndikuwa, ne byʼotosabye: obugagga nʼekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo.
14Era bwʼonootambuliranga mu makubo gange, nʼokukwatanga amateeka gange nʼebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndyongera ku nnaku zo.”
15Awo Sulemaani nʼazuukuka nʼamanya nga kibadde kirooto.
16Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge.
17Omu ku bo nʼamugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali.
18Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye nʼazaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu nʼomu eyali naffe mu nnyumba.
19“Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we nʼamutta.
20Nʼagolokoka ekiro mu ttumbi nʼaggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, nʼamuteeka mu kifuba kye, ate nʼaddira owuwe afudde nʼamussa mu kifuba kyange.
21Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe nʼamwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.”
22Omukazi oli omulala nʼagamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.”
23Kabaka nʼagamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ nʼomulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ ”
24Awo kabaka nʼagamba nti, “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala.
25Nʼalyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu nʼomulala ekitundu ekirala.”
26Nnyina wʼomwana omulamu nʼajjula ennaku olwʼomwana we, nʼagamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli nʼagamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”
27Awo kabaka nʼasalawo ngʼagamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi owʼolubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.”
28Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ngʼalina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.