1Kabaka Sulemaani nʼaba kabaka wa Isirayiri yonna.
2Era bano be baali abakungu be:
2Azaliya[11] muzzukulu wa Zadooki, yali kabona,
3Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, baali bawandiisi,
3Yekosafaati mutabani wa Akirudi, yali mujjukiza,
4Benaya mutabani wa Yekoyaada, yali muduumizi wʼeggye omukulu,
4Zadooki ne Abiyasaali baali bakabona,
5Azaliya mutabani wa Nasani, yali mukulu wʼabaami,
5Zabudi mutabani wa Nasani, yali kabona ate nga ye muwi wa magezi wa kabaka omukulu,
6Akisaali, yali ssabakaaki wa kabaka;
6ne Adoniraamu mutabani wa Abuda, yali mukulu wʼabaddu.
7Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka nʼabʼomu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka.
8Era gano ge mannya gaabwe:
8Benikuli, mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu;
9Benidekeri, mu Makazi, mu Saalubimu, mu Besusemesi, ne mu Eronubesukanani;
9
10Benikesedi, mu Alubbosi, Soko nʼensi yonna eyʼe Kefera yali yiye;
10
11Beniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu ekyʼe Doli;
11
12Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi wʼe Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumeyaani;
12
13Benigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era nʼessaza Alugobu eriri mu Basani nʼebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki owʼekikomo;
13
14Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu;
14
15Akimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali,
15
16Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi;
16
17Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali;
17
18Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini;
18
19Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka wʼAbamoli, nʼensi ya Ogi kabaka wʼe Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.
20Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ngʼomusenyu ku lubalama lwʼennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka.
21ⓚ Sulemaani nʼafuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi eyʼAbafirisuuti nʼokutuuka ku nsalo eyʼe Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ezʼobulamu bwe[12].
22Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero byʼobutta obulungi kilo mukaaga nʼobutundu mukaaga, nʼebigero ebyʼobutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu nʼobutundu bubiri;
23ente eza ssava kkumi, nʼente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu nʼendiga kikumi, nʼenjaza, nʼempeewo, nʼennangaazi, nʼenkoko ze baalondangamu.
24Yafuganga ensi yonna eri emitala wʼOmugga Fulaati, okuva e Tifusa[13] okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola.
25Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ngʼalina ennimiro ye eyʼemizabbibu nʼeyʼemitiini.
30Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira agʼabasajja bonna abʼebuvanjuba[14], ate nʼokusinga ago agʼe Misiri.
31ⓜ Yali mugezi okukira abantu bonna, era nʼokukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde.
32ⓝ Yagera engero enkumi ssatu, nʼennyimba ze zaali lukumi mu ttaano.
33Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo nʼennyonyi, nʼebyewalula nʼebyennyanja.
34Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.