1 Bassekabaka 5:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Kiramu kabaka wʼe Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ngʼasikidde kitaawe Dawudi, nʼatuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi.

2Sulemaani nʼatumira Kiramu ngʼayogera nti,

3“Omanyi nti, Olwʼentalo ennyingi ezeetooloola Dawudi kitange, teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we yeekaalu, okutuusa Mukama lwe yamala okuteeka abalabe be wansi wʼebigere bye.

4Naye kaakano Mukama Katonda wange awadde Isirayiri yonna emirembe ku njuyi zonna, era tewakyali mulabe wadde akabi akʼengeri yonna.

5 Era, laba, nsuubira okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange yeekaalu, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange, bwe yayogera nti, ‘Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe eyʼobwakabaka mu kifo kyo, yalizimbira erinnya lyange yeekaalu.’

6Noolwekyo lagira basajja bo bantemere emivule gya Lebanooni. Abaddu bange banaakoleranga wamu nʼabaddu bo, era nakuweerezanga empeera yonna, gyʼolinsaba olwʼabaddu bo. Omanyi nga ku ffe tekuli nʼomu alina magezi kutema miti okwenkana abʼe Sidoni.”

7Awo Kiramu bwe yawulira obubaka bwa Sulemaani, nʼasanyuka nnyo era nʼayogera nti, “Mukama yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana owʼamagezi okufuga eggwanga lino eddene.”

8Awo Kiramu nʼatumira Sulemaani ngʼayogera nti, “Obubaka bwe wampeereza mbufunye, era nnaakola byʼoyagala byonna ebyʼemiti egyʼemivule nʼemiti egyʼemiberosi.

9Basajja bange baligiggya mu Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja, era ndigisengeka ngʼebitindiro okuyita ku nnyanja okugituusa mu kifo kyʼolindaga. Nga gituuse eyo ndiragira ne bagisumulula, ne gikuweebwa. Kye njagala okolere abʼomu nnyumba yange, kwe kubawanga emmere.”

10Awo Kiramu nʼawa Sulemaani emiti gyʼemivule nʼemiti egyʼemiberosi nga bwe yayagala,

11 ne Sulemaani nʼamuwanga ebigero byʼeŋŋaano kilo enkumi nnya mu bina ebyʼemmere eyʼennyumba ye, nʼamafuta agʼomuzeeyituuni ebigero amakumi abiri, ze kilo nga bina mu ana buli mwaka. Kino Sulemaani yakikoleranga Kiramu buli mwaka.

12Mukama nʼawa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza. Ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, nʼokulagaana ne balagaana endagaano bombi.

13Kabaka Sulemaani nʼakuŋŋaanya abakozi mu Isirayiri yonna, ne bawera abasajja emitwalo esatu.

14 Nʼabaweerezanga e Lebanooni mu mpalo; buli luwalo nga lumala omwezi gumu e Lebanooni nʼemyezi ebiri ewaabwe, era Adoniraamu ye yabavunaanyizibwanga.

15Sulemaani yalina abantu emitwalo musanvu abaasitulanga emigugu, nʼemitwalo munaana abaatemanga amayinja ku nsozi,

16 ate nʼabaami be enkumi ssatu mu bisatu abaalabiriranga omulimu nʼokulagirira abakozi.

17Kabaka nʼalagira bateme amayinja amanene ddala nga bagaggya mu kirombe kyʼamayinja agʼomuwendo, okuzimba emisingi gya yeekaalu nʼamayinja amateme obulungi.

18Abaweesi ba Sulemaani nʼaba Kiramu, wamu nʼabasajja ba Gebali ne balongoosa nʼokutegeka ne bategeka emiti nʼamayinja ebyʼokuzimba yeekaalu.

>