1 Bassekabaka 6:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwʼebina mu kinaana, abaana ba Isirayiri kasookedde bava mu nsi yʼe Misiri, mu mwaka ogwokuna ogwʼobufuzi bwa Sulemaani, mu mwezi ogwokubiri ogwa Zivu[15], Sulemaani nʼatandika okuzimba yeekaalu ya Mukama.

2Eyeekaalu kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama yali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu, nʼobugazi mita mwenda, nʼobuwanvu mita kkumi na ssatu nʼekitundu.

3Awayingirirwa mu maaso gʼekisenge ekinene ekya yeekaalu, waali mita mwenda, ngʼobugazi bwa yeekaalu bwe bwali, ate ngʼobugazi bwakyo mu maaso kiri mita nnya nʼekitundu okuva mu maaso ga yeekaalu.

4Nʼakola amadirisa amafunda mu kisenge kya yeekaalu.

5Wakati wʼebisenge ebyʼekisenge ekinene, nʼekifo awʼokwogerera, nʼazimba obusenge obwʼokubbalibbali okwetooloola wo.

6Ekisenge ekya wansi kyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obugazi, nʼekisenge ekyʼessa erya wakati kyali mita bbiri ne desimoolo musanvu, nʼekisenge ekyʼessa eryokusatu kyali mita ssatu ne desimoolo bbiri. Nʼasalako emiti okwetooloola eyeekaalu gireme okukomererwa mu bisenge bya yeekaalu.

7Bwe baali nga bazimba yeekaalu, baakozesanga amayinja agaali galongosereddwa gye bagatemeranga, era tewaawulirwa kuvuga okwʼengeri yonna okwʼennyondo newaakubadde embazzi wadde ekyuma ekyʼengeri yonna mu kifo awaali wazimbirwa yeekaalu.

8Omulyango ogwʼekisenge ekya wakati gwali ku luuyi olwʼobukiikaddyo obwa yeekaalu; waabangawo amadaala agaakozesebwanga okugenda mu kisenge ekya wakati, nʼokweyongerayo mu kisenge ekyokusatu ekya waggulu.

9Awo nʼazimba yeekaalu nʼagimala, nʼagisereka nʼemiti nʼembaawo ezʼemivule.

10Nʼazimba nʼebisenge ebitono okwetooloola yeekaalu, nʼobugulumivu bwa buli kimu bwali mita emu nʼekitundu, nga byesigamizibbwa ku kisenge kya yeekaalu nʼemiti gyʼemivule.

11Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Sulemaani nti,

12“Bino bye bikwata ku yeekaalu eno gyʼozimba; bwʼonootambuliranga mu mateeka gange, nʼogondera ebiragiro byange, nʼokwatanga nʼamateeka gange gonna ngʼogatambuliramu, kale ndituukiriza ekigambo kye nayogera eri Dawudi kitaawo.

13Era nnaabeeranga wamu nʼabaana ba Isirayiri, so siryabuulira bantu bange Isirayiri.”

14Sulemaani nʼazimba yeekaalu nʼagimala.

15Ku bisenge ebyʼomunda nʼassaako embaawo ezʼemivule nʼazikomelera okuva wansi wa yeekaalu okutuukira ddala ku kasolya, era ne wansi wa yeekaalu nʼayaliirirawo embaawo ezʼemiberosi.

16 Nʼayawuzaamu emabega wa yeekaalu, nʼakolawo ekifo mu yeekaalu ekyenkana mita mwenda, nga kyʼekisenge awaayimirirwanga okwogera, ekya watukuvu ennyo, ngʼakozesa embaawo ezʼemivule okuva wansi okutuuka ku kasolya.

17Ekisenge ekinene ddala ekyali mu maaso gʼekisenge, awaayimirirwanga okwogera waali obuwanvu mita kkumi na munaana.

18Ne munda wa yeekaalu mwali mwaliriddwamu emivule egyayolebwako entaabwa nʼebimuli ebyanjulukuse. Byonna byali bya mivule; tewaali jjinja eryalabika.

19Nʼateekateeka ekisenge ekyʼomunda ddala okumpi nʼawaayimirirwanga okwogera mu yeekaalu, okuteekamu essanduuko eyʼendagaano ya Mukama.

20Era munda awaayimirirwanga okwogera mwalimu ebbanga erya mita mwenda obuwanvu, ne mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu[16]. Munda mwonna nʼasiigamu zaabu ennongoose[17], era nʼakola nʼekyoto nʼakisabika nʼemivule.

21Sulemaani nʼasabika munda wa yeekaalu ne zaabu ennongoose, nʼayongerako nʼenjegere eza zaabu mu maaso gʼomu kisenge ekyʼomunda ekyali kibikiddwako zaabu.

22 Munda wa yeekaalu mwonna, nʼassaamu zaabu, ne ku kyoto ekyʼomu kisenge awaayimirirwanga okwogera[18] nʼasiigako zaabu.

23 Mu kisenge awaayimirirwanga okwogera nʼakolawo bakerubi babiri abʼemiti egyʼemizeeyituuni, buli kerubi obugulumivu bwe mita nnya nʼekitundu.

24Obuwanvu bwʼekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi omu bwali mita bbiri nʼobutundu busatu, nʼekiwaawaatiro ekyokubiri mita bbiri nʼobutundu busatu, ze mita nnya nʼekitundu okuva ku luuyi olumu olwʼekiwaawaatiro ekimu okutuuka ku luuyi olwʼekiwaawaatiro ekyokubiri.

25Kerubi owookubiri naye yali mita nnya nʼekitundu, era bakerubi bombi baali ekigero kye kimu nʼendabika yaabwe nga yʼemu.

26Obugulumivu bwa buli kerubi bwali mita nnya nʼekitundu.

27Nʼateeka bakerubi mu kisenge ekyʼomunda ddala mu yeekaalu, ngʼebiwaawaatiro byabwe byanjuluzibbwa. Ekiwaawaatiro ekya kerubi omu ne kikwata ku kisenge eruuyi, nʼekiwaawaatiro ekya kerubi omulala ne kikwata ku kisenge ekirala eruuyi, ebiwaawaatiro byabwe ne bikwatagana wakati wa yeekaalu.

28Bakerubi nʼabasiigako zaabu.

29Ku bisenge byonna ebya yeekaalu okwetooloola, mu bisenge ebyʼomunda, ne mu bisenge ebyʼebweru, nʼakola ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, nʼenkindu, nʼebimuli ebyanjulukuse.

30Ne wansi mu bisenge ebyʼomunda nʼebyʼebweru ebya yeekaalu nʼassaamu zaabu.

31Awayingirirwa mu kifo awaayimirirwanga okwogera, waali wawaniriddwa emifuubeeto nʼempagi ezʼenzigi, omulyango nga gwa nsonda ttaano.

32Ku nzigi zombi ezʼemiti egyʼemizeeyituuni nʼakubako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, nʼenkindu, nʼebimuli ebyanjulukuse, bakerubi nʼenkindu nʼabisiiga zaabu.

33Mu ngeri yʼemu nʼakola omulyango oguyingira mu kisenge ekinene ddala, nʼateekawo emifuubeeto egyʼemizeeyituuni, omulyango nga gwa nsonda nnya.

34Nʼakola nʼenzigi bbiri za miberosi, buli luggi nga lulina embaawo bbiri ezakyukiranga mu myango.

35Ku zo nʼayolako ebifaananyi ebya bakerubi, nʼenkindu nʼebimuli ebyanjulukuse, nʼabisiiga zaabu ensanuuse.

36Nʼazimba oluggya olwʼomunda nʼembu ssatu ezʼamayinja amateme obulungi, nʼolubu olwʼemiti egyʼemivule.

37Awo mu mwaka ogwokuna, mu mwezi Zivu omusingi gwa yeekaalu ya Mukama ne gumalirizibwa.

38Mu mwaka ogwʼekkumi nʼogumu mu mwezi Buli[19], gwe mwezi ogwʼomunaana, ebitundu byonna ebya yeekaalu ne bimalirizibwa ngʼebigero byabyo bwe byali. Yamala emyaka musanvu ngʼagizimba.

>