1Sulemaani kyamutwalira ebbanga lya myaka kkumi nʼesatu okuzimba olubiri lwe.
2Nʼazimba olubiri nga luli ngʼEkibira kya Lebanooni
3Ne luserekebwa nʼemivule ku mikiikiro amakumi ana mu etaano, buli lunyiriri nga lulimu kkumi na ttaano.
4Waaliwo amadirisa agaateekebwa mu nnyiriri ssatu, buli limu nga litunuulidde linnaalyo.
5Buli mulyango gwalina omwango nga gwa nsonda nnya, era nga gitunuuliraganye mu nnyiriri ssatu.
6Nʼazimba ekisenge ekinene ekyʼempagi obuwanvu mita amakumi abiri mu ssatu nʼobugazi mita kkumi na ssatu nʼekitundu. Mu maaso gaakyo waaliwo ekisasi, ekyali kiwaniriddwa empagi ezʼemiti.
7Yazimba nʼekisenge ekinene omwali entebe eyobwakabaka, nga kye kisenge mwe yasaliranga emisango, era nga kyonna kyʼateekebwamu emivule okuva wansi okutuuka waggulu.
8
9Okuva ku musingi okutuuka waggulu, ebizimbe ebyo byonna nʼoluggya olunene, byazimbibwa nʼamayinja agaagerebwa ne gasalibwa nʼemisumeeno, mu bigera byago.
10Omusingi gwʼazimbibwa nʼamayinja amanene amalungi, agamu ngʼobuwanvu genkana mita nnya nʼekitundu nʼamalala ngʼobuwanvu genkana mita ssatu nʼobutundu mukaaga.
11Waggulu okumpi nʼakasolya waaliyo amayinja agʼomuwendo omungi, agatemebwa nga bwe gaagerebwa, nʼemiti egyʼemivule.
12Oluggya olunene lwali lwetooloddwa bbugwe owʼembu ssatu ezʼamayinja amateme, nʼolubu olumu nga lwa miti egyʼemivule, ngʼekisasi ekyʼomu maaso nʼoluggya olwʼomunda olwa yeekaalu bwe byali bizimbiddwa.
13Kabaka Sulemaani nʼatumya Kiramu owʼe Ttuulo, eyali mutabani wa nnamwandu owʼomu kika kya Nafutaali.
14Kitaawe yali musajja wʼe Ttuulo nga muweesi wa bikomo. Kiramu yali musajja mugezi, mumanyirivu nnyo era ngʼategeera emirimu egyʼebyebikomo egya buli ngeri. Nʼagenda eri Kabaka Sulemaani, nʼakola emirimu gyonna egya muweebwa.
15Kiramu nʼakola empagi bbiri ezʼekikomo, buli emu obuwanvu mita munaana nʼakatundu kamu, nʼokwetooloola buli emu mita ttaano nʼobutundu buna.
16Waggulu wa buli mpagi nʼassaako ebitikkiro ebyalina ebitimba ebyʼomulimu ogwʼekikomo, nʼemigo egyʼomulimu ogwʼemikuufu egyalukibwa.
17Nʼakola empagi zombi nʼebitikkiro byakwo nga zitimbiddwa buli emu ngʼerina ebiruke ngʼamalanga agʼamakomamawanga, musanvu.
18Ebitikkiro ebyali ku mpagi ezʼolubalaza zakolebwa ngʼamalanga agʼebimuli ebyʼamakomamawanga.
19Ebitikkiro ebyʼempagi byali ngʼamalanga nga ziri mita emu nʼobutundu munaana obugulumivu.
20Ku buli nkufiira eyʼempagi kwaliko ekifaanana ngʼebakuli okuliraana nʼomulimu ogufaanana ngʼekintu ekiruke, era waaliwo amakomamawanga ebikumi bibiri mu mbu okwetooloola ebitikkiro ebyo.
21Nʼakola empagi bbiri ku lubalaza lwa yeekaalu, emu nʼagizimba ku luuyi olwʼobukiikaddyo nʼagituuma Yakini, nʼeyokubiri nʼagizimba ku luuyi olwʼobukiikakkono nʼagituuma Bowaazi.
22Ebitikkiro byabyo byakolebwako ebimuli ebyʼamalanga, era bwe gutyo omulimu ogwʼokuzimba empagi ne guggwa.
23Nʼakola ttanka
24Wansi wʼomugo gwayo kwaliko entaabwa okugyetooloola, kkumi buli butundu busatu obwa mita, era nga ziri embu bbiri, ezasaanuusibwa nayo.
25Ettanka ennene yatuulanga ku bifaananyi byʼente ennume kkumi na bbiri, esatu nga zitunudde mu bukiikakkono, nʼendala essatu nga zitunudde ebugwanjuba, nʼendala essatu nga zitunudde mu bukiikaddyo, nʼendala essatu nga zitunudde ebuvanjuba, era ngʼebitundu byabyo ebyʼemabega nga bitunuuliraganye mu masekkati gaayo.
26Obugazi bwayo yali oluta lumu, nʼomugo gwayo gwakolebwa ngʼomugo gwʼekibya, ngʼekimuli kyʼamalanga. Yajjulanga lita emitwalo ena mu enkumi nnya.
27Nʼakola nʼebitebe ebiseetulwa, mu bikomo buli kimu obuwanvu bwakyo mita emu nʼobutundu munaana, nʼobugazi bwe bumu, ate obugulumivu mita emu nʼobutundu busatu.
28Ebitebe ebyo byʼakolebwa bwe biti: byalina enkulukumbi mu myango gyabyo.
29Ku nkulukumbi wakati mu myango mwalimu ebifaananyi bya bakerubi nʼebyʼempologoma, nʼebyʼente ennume; kwaliko nʼebintu ebireebeeta ebyakolebwa nʼemikono.
30Buli kitebe kyʼalina nnamuziga nnya ezʼebikomo, nʼentobo za nnamuziga nga za bikomo, era nga buli kimu kirina ebensani ewaniriddwa mu nsonda nnya nʼemisituliro egyasaanuusibwa, nga ku buli musituliro kuliko ebireebeeta.
31Ekitebe ekimu kyalina akamwa akalina omwango omwekulungirivu ogwali kitundu kya mita mu kukka. Akamwa kaagwo kaali keekulungirivu nʼomulimu ogwa wansi kwe kyaterezebwanga, nga gwa butundu musanvu obwa mita mu kukka. Ku kamwa kaagwo kwaliko enjola, nʼenkulumbi zaakyo nga si nnekulungirivu naye ngʼenjuyi zonna zenkanankana.
32Nnamuziga ennya zaali wansi wʼenkulumbi; nʼemisingi gya nnamuziga gyali gikomereddwa ku kitebe. Okusala mu bukiika bwa nnamuziga emu bwali obutundu musanvu obwa mita.
33Nnamuziga zaakolebwa nga nnamuziga ezʼamagaali, era kwaliko emisingi, nʼempanka, nʼempagi, nʼemisumaali nga byonna byʼakolebwa mu kyuma ekisaanuuse.
34Kwaliko emisituliro ena ku nsonda ennya eza buli kitebe era gyonna nga gya kika kyekimu nʼekitebe.
35Ku ntikko eya buli kitebe kwaliko engeri eyʼekikoba ekyekulungirivu; okukka kwakyo obutundu bubiri obwa mita, nʼembiriizi zaakyo nʼenkulukumbi ebyagiwaniriranga, byakwatagananga ku ntikko.
36Ku biwanirira ne ku nkulukumbi, Kiramu yakolako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, nʼebyʼempologoma, nʼebyʼenkindu mu buli kifo omwali ebbanga, era nʼayolako ebimuli okwetooloola.
37Bwʼatyo bwe yakola ebitebe ekkumi. Byonna yabikola mu kyuma ekisaanuuse kyekimu, era nʼabikola byonna nga bya kigero kyekimu, nʼokufaanana nga bifaanana.
38
39Nʼaddira ebitebe bitaano ku byo nʼabiteeka ku luuyi olwʼobukiikaddyo obwa yeekaalu, nʼebitaano ebirala ku luuyi olwʼobukiikakkono; nʼateeka Ennyanja ku luuyi olwʼobukiikaddyo obwʼebuvanjuba obwa yeekaalu.
40Nʼakola nʼensuwa, nʼamabensani, nʼebijiiko, nʼamabensani agʼokumansira.
41
42
43
44
45
46Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani awali ettaka eryʼebbumba wakati wʼe Sukkosi ne Zalesani.
47Sulemaani teyapima bintu ebyo byonna, kubanga byali biyitiridde obungi; era tewali yapima buzito obwʼekikomo ebintu mwe byakolebwa.
48
49
50
51