1Awo Sulemaani nʼayita abakadde ba Isirayiri, nʼabakulu bʼebika bonna, nʼabaami bʼennyumba za Isirayiri bonna, okuggya essanduuko eyʼendagaano ya Mukama mu Sayuuni ekibuga kya Dawudi, okugireeta e Yerusaalemi.
2Bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka Sulemaani ku mbaga mu mwezi ogwa Esanimu
3Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, bakabona ne basitula essanduuko,
4ne bagireeta, ne baleeterako nʼEweema eyʼOkukuŋŋaanirangamu nʼebintu byonna ebitukuvu ebyalimu.
5Bakabona nʼAbaleevi ne babisitula, Kabaka Sulemaani nʼabo abaali awamu naye, nʼeggwanga lyonna erya Isirayiri eryali liri naye mu maaso gʼessanduuko, ne bawaayo ebiweebwayo ebya ssaddaaka ebyʼendiga, nʼente, ebitaamanyibwa muwendo.
6Bakabona ne bayingiza essanduuko eyʼendagaano ya Mukama mu kifo kyayo, mu kisenge ekyʼomunda, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi wʼebiwaawaatiro bya bakerubi.
7Ebiwaawaatiro bya bakerubi byali byanjuluze ku kifo essanduuko we yateekebwa, ne bibikka ku ssanduuko ne ku misituliro gyayo.
8Emisituliro gino gyali miwanvu nnyo nga nʼokulabika girabikira mu kifo ekitukuvu mu maaso gʼekisenge ekitukuvu ennyo, naye nga tegirabika okuva ebweru; era gikyaliyo ne leero.
9Temwali kintu mu ssanduuko okuggyako ebipande ebibiri ebyʼamayinja Musa bye yateekamu e Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano nʼabaana ba Isirayiri, nga bavudde mu nsi yʼe Misiri.
10Awo bakabona bwe baava mu kifo ekitukuvu, ekire ne kibuna yeekaalu ya Mukama,
11bakabona nʼokuyinza ne batayinza kuweereza olwʼekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.
12Awo Sulemaani nʼagamba nti, “Mukama yayogera nti Anaabeeranga mu kire ekikutte.
13Nkuzimbidde yeekaalu eyʼekitiibwa, ekifo wonootuulanga emirembe gyonna.”
14Ekibiina kyonna ekya Isirayiri bwe kyali kiyimiridde awo, kabaka nʼabakyukira nʼabasabira omukisa.
15Nʼayogera nti,
16Yayogera nti, ‘Okuva ku lunaku lwe naggyirako abantu bange Isirayiri mu Misiri, seerobozanga kibuga na kimu mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimbamu yeekaalu, naye neeroboza Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’
17Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama, Katonda wa Isirayiri yeekaalu.
18Naye Mukama nʼagamba Dawudi kitange nti, ‘Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange eyeekaalu, walowooza bulungi.
19Naye si ggwe olinzimbira yeekaalu, mutabani wo alikuzaalirwa, owʼomusaayi gwo yennyini, yʼalizimbira erinnya lyange eyeekaalu.’
20Mukama atuukirizza kye yasuubiza, ne nsikira Dawudi kitange, nʼokutuula ne ntuula ku ntebe eyʼobwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu.
21Ntaddewo ekifo kyʼessanduuko, omuli endagaano ya Mukama gye yakola ne bajjajjaffe, ngʼabaggya mu nsi yʼe Misiri.”
22Awo Sulemaani nʼayimirira mu maaso gʼekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isirayiri nga kiraba, nʼayanjuluza emikono gye eri eggulu,
23nʼayogera nti,
24Okuumye ekisuubizo kyo eri omuddu wo Dawudi kitange; wasuubiza nʼakamwa ko era okituukirizza nʼomukono gwo, nga bwe kiri leero.”
25“Kaakano Mukama, Katonda wa Isirayiri, otuukirize bye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, bwe wagamba nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu buli kye banaakolanga, ne batambuliranga mu maaso gange nga bwʼokoze, wanaabangawo owʼomu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe eyʼobwakabaka bwa Isirayiri mu maaso gange.’
26Era kaakano, Ayi Katonda wa Isirayiri, ekigambo kyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, okituukirize.”
27“Naye ddala Katonda anaabeeranga ku nsi? Laba, eggulu nʼeggulu lyʼeggulu terikumala, ne yeekaalu eno toyinza kugigyamu.
28Kaakano osseeyo omwoyo eri okusaba kwʼomuddu wo nʼokwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange. Owulire okukaaba nʼokusaba omuddu wo kwʼasaba mu maaso go leero.
29Amaaso go gatunuulirenga yeekaalu eno emisana nʼekiro, ekifo kino kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo,’ okuwulira okusaba kwʼomuddu wo kwʼasabira ekifo kino.
30Owulire okwegayirira kwʼomuddu wo, nʼokwʼabantu bo Isirayiri, bwe banasabanga nga batunuulidde ekifo kino. Owulire okuva mu ggulu, ekifo gyʼobeera, era bwʼotuwulira, tukwegayiridde otusonyiwe.”
31“Omuntu bwʼanaasobyanga muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, nʼajja nʼalayirira mu maaso gʼekyoto mu yeekaalu eno,
32owulire okuva mu ggulu, era omukole nga bwʼolaba. Osale omusango wakati wa baddu bo, era obonereze oyo omusango gwe gusinze nga bwe kimusaanidde. Olangirire nti Atasobezza taliiko musango, ekyo kinaakakasa nti taliiko musango.”
33“Abantu bo Isirayiri bwe banaawaangulibwanga omulabe olwʼebibi byabwe, ne bakyuka ne badda gyʼoli, ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne bakwegayirira mu yeekaalu muno,
34kale owulirenga ngʼoli mu ggulu, era osonyiwenga abantu bo Isirayiri olwʼebibi byabwe, era obakomyengawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.”
35“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, olwʼebibi byabwe, era bwe banasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, olwʼokubabonereza,
36kale owulirenga ngʼoli mu ggulu, era obasonyiwenga ekibi kyʼabaddu bo, abantu bo Isirayiri. Obayigirize ekkubo etuufu eryʼokutambulirangamu, era otonnyese enkuba ku nsi gye wawa abantu bo ngʼomugabo gwabwe.”
37“Bwe wanaabangawo enjala mu nsi, oba kawumpuli, oba okugengewala oba bukuku, oba enzige, oba omulabe ngʼabazingizza mu bibuga byabwe, endwadde yonna ne bweneefaanananga etya,
38omuntu yenna ku bantu bo bwʼanaasabiranga ekintu kyonna, buli omu nʼamanya endwadde eyʼomu mutima gwe, era nʼayanjuluza emikono gye eri yeekaalu eno, kale owulirenga ngʼoli mu ggulu, ekifo gyʼobeera.
39Osonyiwenga era okolenga buli muntu ngʼebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka ggwe omanyi, emitima gyʼabantu bonna,
40balyoke bakutyenga ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.”
41“Ebikwata ku munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isirayiri, naye ngʼavudde mu nsi eyʼewala olwʼerinnya lyo,
42kubanga abantu baliwulira erinnya lyo ekkulu nʼomukono gwo ogwʼamaanyi, bwʼanajjanga nʼasaba ngʼatunuulidde yeekaalu eno;
43owulirenga ngʼoli mu ggulu, ekifo gyʼobeera, era okolenga buli kintu kyonna omunaggwanga oyo kyʼanaakusabanga, abantu bonna abʼomu nsi bamanye erinnya lyo era bakutyenga, ngʼabantu bo Isirayiri bwe bakola, era bamanyenga nti Ennyumba eno gye nzimbye, etuumiddwa erinnya lyo.”
44“Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe gyʼonoobasindikanga ne basaba Mukama nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo,
45kale owulirenga okusaba kwabwe nʼokwegayirira kwabwe ngʼoli mu ggulu, otegeere ensonga zaabwe.”
46“Bwe banaayonoonanga mu maaso go, kubanga tewali muntu atasobyanga, nʼobasunguwalira nʼobagabula eri omulabe, ne batwalibwa mu nsi eyeewala oba eyokumpi;
47era bwe banaakyusanga emitima gyabwe nga bali mu nsi gye baabatwala ne babasibira eyo, ne beenenya era ne bakwegayiririra mu nsi yʼabo abaabatwala nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola ebikyamu era ne tukola ekyejo;’
48bwe banaakukyukiranga nʼomutima gwabwe gwonna nʼemmeeme yaabwe yonna mu nsi eyʼabalabe baabwe abaabawamba, ne bakusaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo;
49kale owulirenga okusaba kwabwe nʼokwegayirira kwabwe ngʼoli mu ggulu ekifo gyʼobeera, era otegeerenga ensonga yaabwe.
50Osonyiwenga abantu bo abakusobezza, era obasonyiwenga ebibi byabwe byonna, era abo abaabawangula babakwatirwe ekisa,
51kubanga bantu bo era gwe mugabo gwo, be waggya mu Misiri, mu kyoto ekisaanuusa ekyuma.”
52“Ontunuulize amaaso agʼekisa olabe okwegayirira kwʼabantu bo Isirayiri, era obawulirenga buli lwe banaakukaabiriranga.
53Ayi Mukama Ayinzabyonna gwe walonda abantu bo mu mawanga gonna agʼomu nsi okuba ababo, nga bwe wayogerera mu muddu wo Musa, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri.”
54Awo Sulemaani bwe yamala okusaba nʼokwegayiririra abantu eri Mukama, nʼasituka okuva we yali afukamidde ngʼemikono gye ajanjuluza eri eggulu, mu maaso gʼekyoto kya Mukama.
55Nʼayimirira nʼasabira ekibiina kyonna ekya Isirayiri omukisa mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba nti,
56“Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isirayiri okuwummula nga bwe yasuubiza. Tewali kigambo na kimu ekitatuukiridde ku ebyo ebirungi bye yasuubiza omuddu we Musa.
57Mukama Katonda waffe abeere wamu naffe nga bwe yali ne bajjajjaffe, era aleme okutuleka wadde okutwabulira.
58Akyuse emitima gyaffe tudde gyali, okutambuliranga mu makubo ge gonna, nʼokukwatanga ebiragiro bye, nʼamateeka ge, nʼebigambo bye nʼemisango gye bye yawa bajjajjaffe.
59Nʼebigambo byange bino bye nsabye mu maaso ga Mukama, bibeerenga kumpi ne Mukama Katonda waffe emisana nʼekiro, alyoke awanirire ensonga yʼabantu be Isirayiri, ngʼebyetaago ebya buli lunaku,
60abantu bonna abʼoku nsi bategeere nga Mukama ye Katonda era tewali mulala.
61Naye emitima gyammwe giteekwa okunywerera ku Mukama Katonda waffe, nga mutambulira mu mateeka ge, nʼokugondera ebiragiro bye, nga bwe mukola leero.”
62Awo Kabaka ne Isirayiri yonna ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.
63Sulemaani yawaayo ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe eri Mukama, era bino bye yawaayo: ente emitwalo ebiri, nʼendiga nʼembuzi emitwalo kkumi nʼebiri. Bwe batyo Kabaka nʼAbayisirayiri bonna ne bawonga yeekaalu ya Mukama.
64Ku lunaku olwo Kabaka kwe yatukuliza oluggya olwa wakati mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo nʼaweerayo ebiweebwayo ebyokebwa, nʼebyʼobutta, nʼamasavu gʼebiweebwayo olwʼemirembe, kubanga ekyoto ekyʼekikomo mu maaso ga Mukama kyali kitono nnyo okugyaako ebiweebwayo ebyokebwa, nʼebiweebwayo ebyʼobutta, nʼamasavu gʼebiweebwayo olwʼemirembe.
65Sulemaani ne Isirayiri yonna wamu naye, ne batuukiriza embaga eyo mu biro ebyo, ekibiina ekinene ddala mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga beegatiddwako abantu abaava ku mulyango gwa Kamasi nʼabaava ku mukutu gwʼe Misiri, okumala ennaku kkumi na nnya.
66Ku lunaku olwaddirira abantu ne basabira Kabaka omukisa, nʼabasiibula ne baddayo ewaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mutima olwʼebirungi byonna Mukama bye yali akoledde Dawudi omuddu we nʼabantu be Isirayiri.