1 Bassekabaka 9:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba yeekaalu ya Mukama nʼolubiri lwe, nʼokuzimba ebyo byonna bye yasiima,

2Mukama nʼamulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni.

3Mukama nʼamugamba nti,

3“Mpulidde okusaba nʼokwegayirira kwʼowaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gyʼozimbye, nʼerinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange nʼomutima gwange binaabeeranga omwo.

4Naawe bwʼonootambuliranga mu maaso gange nʼomutima ogwʼamazima nʼobugolokofu, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, era nʼokolanga bye nkulagira byonna, nʼokwatanga amateeka gange,

5nnaanyweza entebe yo eyʼobwakabaka mu Isirayiri emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza Dawudi kitaawo bwe nʼayogera nti, ‘Tolirema kuba na musajja owʼomu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe eyʼobwakabaka bwa Isirayiri.’

6Naye ggwe oba batabani bo bwe munanjeemeranga ne mutakwatanga biragiro byange nʼamateeka ge mbawadde, ne mutanula okuweereza bakatonda abalala,

7kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza nʼerinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka ekyʼokunyoomoolwa nʼekyokusekererwa mu mawanga gonna.

8Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga nʼaŋŋoola ngʼagamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’

9Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, nʼokubasinza ne babasinza era nʼokubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ”

10Ku nkomerero yʼemyaka amakumi abiri, mu kiseera Sulemaani mwe yazimbira ebizimbe byombi, eyeekaalu ya Mukama, nʼolubiri lwe olwʼobwakabaka,

11Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka wʼe Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olwʼemivule, nʼemiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani.

12Naye Kiramu bwe yava e Ttuulo nʼagenda okulambula ebibuga Sulemaani bye yamugabira, ne bitamusanyusa.

13Nʼamubuuza nti, “Bino bibuga bya ngeri ki byʼompadde muganda wange?” Nʼabituuma erinnya Kabuli, era bwe biyitibwa nʼokutuusa olunaku lwa leero.

14Kiramu yali aweerezza kabaka ttani nnya eza zaabu.

15Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe nʼamaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja abʼamaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya Mukama, nʼolubiri lwe, nʼobusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, nʼebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri.

16Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri yali atabadde, nʼokuwamba nʼawamba Gezeri, nʼakireka ngʼakikumyeko omuliro, ngʼasse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo nʼakigabira muwala we, muka Sulemaani ngʼekirabo ku mbaga yaabwe.

17Awo Sulemaani nʼakizimba buggya; nʼazimba ne Besukolooni ekya wansi,

18Baalasi ne Tamali mu ddungu,

19nʼebibuga ebyʼamawanika, nʼomwakuumirwanga amagaali, nʼabeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga.

20Abantu bonna abaasigalawo ku Bamoli, nʼAbakiiti, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi nʼAbayebusi, abataali Bayisirayiri,

21Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani nʼabafuula baddu, nʼokutuusa leero.

22Naye teyafuula Muyisirayiri nʼomu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi bʼamagaali na beebagazi ba mbalaasi ze.

23Era be baali nga abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gye gyonna, era abo bonna abaavunaanyizibwanga emirimu egyo, awamu nga bawera abakungu ebikumi bitaano mu ataano.

24Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi nʼagenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani nʼazimba obusenge obuwagika bbugwe.

25Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo ebyʼemirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, emirundi esatu[24] mu mwaka, ngʼayotereza obubaane mu maaso ga Mukama, ngʼatuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu.

26Kabaka Sulemaani yazimba nʼebyombo mu Eziyonigeba[25] okuliraana Erosi mu Edomu, ku lubalama lwʼennyanja Emyufu.

27Kiramu nʼaweereza abasajja be abalunnyanja okukoleranga awamu nʼaba Sulemaani.

28Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri[26], ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani.

>