1 Ebyomumirembe 10:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Abafirisuuti ne balumba Isirayiri, abasajja Abayisirayiri ne babadduka era bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa.

2Abafirisuuti ne bagobera ddala Sawulo ne batabani be, era batabani be Yonasaani, ne Abinadabu ne Malukisiwa ne battibwa.

3Olutalo ne lweyongerera ddala ne Sawulo ne yeeraliikirira nnyo, anti nʼabalasi nga bamutuseeko era baamulasa nʼalumizibwa.

4 Awo Sawulo nʼagamba eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo, onfumite, ngʼabasajja abo abatali bakomole tebannajja ku nswaza.” Naye eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye nʼatya nnyo, era nʼagaana. Sawulo kyeyava asowolayo ekitala kye nʼakigwako.

5 Awo eyamusituliranga ebyokulwanyisa bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye nʼasowolayo ekikye ne yetta.

6 Sawulo nʼafa bwʼatyo ne batabani be bonsatule, era nʼabo mu nnyumba ye bonna ne bafa.

7 Awo Abayisirayiri bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ngʼeggye lyabwe lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka, Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.

8Enkeera, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abafudde, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bafiiridde ku Lusozi Girubowa.

9 Ne bamwambula, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne bamutemako omutwe, era ne batuma nʼababaka okuddayo mu nsi yʼAbafirisuuti okubategeeza amawulire ago.

10 Ne bateeka ebyokulwanyisa bya Sawulo mu ssabo lya bakatonda baabwe, ate nʼomutwe gwe ne guwanikibwa mu ssabo lya Dagoni.

11Awo abʼe Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye baakola Sawulo,

12 abasajja abazira mu bo ne bagenda ne baggyayo omulambo gwa Sawulo nʼeggya batabani be, ne bagireeta e Yabesi. Ne baziika amagumba gaabwe wansi wʼomwera e Yabesi, era ne basiibira ennaku musanvu.

13 Bwʼatyo Sawulo nʼafa olwʼobutaba mwesigwa eri Mukama, nʼobutakwata kigambo kya Mukama, ate nʼokulagulwa omusamize nʼamwebuuzaako,

14mu kifo kyʼokwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo nʼobwakabaka nʼabuwa Dawudi mutabani wa Yese.

cle>