1ⓝ Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo.
2ⓞ Mu biro ebyʼedda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo nʼakugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”
3ⓟ Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, nʼakola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ngʼayita mu Samwiri.
4ⓠ Awo Dawudi ngʼali wamu nʼAbayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu.
10Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka owʼenkalakkalira ngʼekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali;
11ⓤ Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu wʼabaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna nʼabatta mu lulumbagana lumu.
12Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga yʼomu ku baduumizi abasatu.
13Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti.
14Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama yʼabawadde obuwanguzi.
15Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga nʼeggye lyʼAbafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
16Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga nʼeggye lyʼAbafirisuuti liri e Besirekemu.
17Dawudi nʼayagala amazzi, nʼagamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi agʼokunywa agʼomu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.”
18ⓥ Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye lyʼAbafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo kyʼokuganywa yagawaayo ngʼagafuka eri Mukama.
20Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu wʼabo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era nʼabatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu.
21Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era nʼaba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ngʼomu ku bakulu.
22Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira owʼe Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era nʼokutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro ebyʼomuzira nʼatta empologoma.
23Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu nʼekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ngʼalina omuggo, era nʼamuggyako effumu, nʼalimuttisa.
24Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye nʼayatiikirira nga bali abasajja abasatu abʼamaanyi.
25Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu wʼabambowa be.
26Abasajja abazira abʼeggye baali: Asakeri muganda wa Yowaabu, ne Erukanani mutabani wa Dodo owʼe Besirekemu,
27ne Sammosi Omukalooli,
27ne Kerezi Omuperoni;
28ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,
28ne Abiyezeeri Omwanasosi,
29ne Sibbekayi Omukusasi,
29ne Irayi Omwakowa,
30ne Makalayi Omunetofa,
30ne Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa,
31ne Isayi mutabani wa Libayi owʼe Gibea owʼekika kya Benyamini,
31ne Benaya Omupirasoni,
32ne Kulayi owʼoku bugga obwʼe Gaasi,
32ne Abyeri Omwaluba
33ne Azimavesi Omubakalumi,
33ne Eriyaba Omusaaluboni,
34batabani ba Kasamu Omugizoni,
34ne Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali;
35ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali,
35ne Erifali mutabani wa Uli,
36ne Keferi Omumekera,
36ne Akiya Omuperoni,
37ne Kezulo Omukalumeeri,
37ne Naalayi mutabani wa Ezubayi,
38ne Yoweeri muganda wa Nasani,
38ne Mibukali mutabani wa Kaguli;
39ne Zereki Omwamoni,
39ne Nakalayi Omubeerosi, eyʼetikkanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
40ne Ira Omuyisuli,
40ne Galebu Omuyisuli,
41ne Uliya Omukiiti,
41ne Zabadi mutabani wa Akulayi,
42ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, nʼamakumi asatu abaabeeranga naye,
42
43ne Kanani mutabani wa Maaka,
43ne Yosafaati Omumisuni,
44ne Uzziya Omwasutaloosi,
44ne Samma ne Yeyeeri batabani ba Kosamu Omwaloweri,
45ne Yediyayeri mutabani wa Simuli,
45ne muganda we Yoka, nga bombi Batiizi,
46ne Eryeri Omumakavi,
46ne Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu,