1ⓦ Bano be basajja abajja eri Dawudi e Zikulagi, gye yali yeekwese Sawulo mutabani wa Kiisi, era be bamu ku bamuyamba mu lutalo.
2Baalina obusaale, era nga balasa bulungi, nʼokuvuumuula nga bavuumuula amayinja nʼemikono gyabwe egya ddyo nʼegya kkono, ate nga balina oluganda ne Sawulo owʼekika kya Benyamini.
3Akiyezeri ye yali omukulu, muganda we Yowaasi nʼamuddirira, bombi nga batabani ba Semaa Omugibeya; Yeziyeri ne Pereti batabani ba Azumavesi; Beraka, ne Yeeku Omwanasoni,
4ne Isumaya Omugibyoni, omusajja omuzira ku bali amakumi asatu, era omukulu waabwe; ne Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanaani, ne Yozabadi Omugederi;
5ne Eruzayi, ne Yerimosi, ne Beyaliya, ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu;
6ne Erukaana, ne Issiya, ne Azaleri, ne Yowezeeri, ne Yasobeyamu, Abakoola;
7ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba yerokamu owʼe Gedoli.
8Abamu ku Bagaadi be yawula ku bannaabwe, ne bagenda eri Dawudi ku kigo kye mu ddungu. Baali basajja bʼamaanyi abazira nga balina amafumu nʼengabo era nga beetegefu okulwana. Amaaso gaabwe gaali nga agʼempologoma, era nga bawenyuka emisinde ngʼempeewo mu nsozi.
9Ezeri ye yali omukulu waabwe, ne Obadiya nʼamuddirira, ne Eriyaabu nga ye wookusatu,
10ne Misumanna nga ye wookuna, ne Yeremiya nga ye wookutaano,
10
11ne Attayi nga ye wʼomukaaga, ne Eriyeri nga ye wʼomusanvu,
11
12ne Yokanaani nga ye wa munaana, ne Eruzabadi nga ye wa mwenda,
12
13ne Yeremiya nga ye wa kkumi, ne Makubannayi nga ye wa kkumi nʼomu.
14ⓧ Abagaadi abo baali baduumizi ba ggye, era asembayo mu bukulu ngʼaduumira ekibinja ekyʼabantu lukumi.
15ⓨ Era abo be basajja abaasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogwʼolubereberye, amazzi gaagwo bwe gaabimba ne ganjaala ku ttale ne bagoba abo bonna abaabeeranga mu biwonvu, ebuvanjuba era nʼebugwanjuba.
16Abamu ku basajja ba Benyamini ne Yuda nabo beegatta ku Dawudi mu kigo kye.
17Dawudi nʼafuluma okubasisinkana, nʼabagamba nti, “Bwe muba muzze gye ndi mu mirembe, okunyamba, ndimwetegefu okubasembeza. Naye obanga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, ate nga sirina musango, Katonda wa bajjajjaffe akirabe era abanenye.”
18ⓩ Awo Omwoyo nʼaka ku Amasayi, omukulu wʼabo amakumi asatu, nʼayogera nti, “Ffe tuli babo, Dawudi!Tuli naawe, Omwana wa Yese!Obuwanguzi, Obuwanguzi gyʼoli;era Obuwanguzi bubeere eri abo abakuyamba.”Awo Dawudi nʼabaaniriza era nʼabafuula bakungu mu ggye lye.
19ⓐ Abasajja abamu abʼekika kya Manase ne badda ku ludda lwa Dawudi, bwe yagenda nʼAbafirisuuti okutabaala Sawulo newaakubadde nga ye nʼabasajja be tebayamba Abafirisuuti kubanga oluvannyuma lwʼokwetesaganyaamu, abakungu bʼAbafirisuuti baamugoba. Baagamba nti, “Bwʼanadda ku ludda lwa mukama we Sawulo, tunaagwa mu katyabaga.”
20Dawudi bwe yali ngʼagenda e Zikulagi, abasajja abʼekika kya Manase abaasalawo okumwegattako baali: Aduna, ne Yozabadi, ne Yediyayaeri, ne Mikayiri, ne Yozabadi, ne Eriku, ne Zirresayi, nʼabakungu abaakuliranga ebibinja ebyʼolukumi mu Manase.
21Baayamba nnyo Dawudi okulwana nʼebibinja bya bayeekera, kubanga bonna baali baserikale bazira, ate nga baduumizi mu ggye lye.
22Buli lwakyanga nga wabeerawo abasajja abajja okuyamba ate era nʼokwegatta ku Dawudi, okutuusa eggye lye bwe lyafuuka eddene, eryʼamaanyi.
23ⓑ Guno gwe muwendo gwʼabasajja abaali beetegekedde olutalo abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okuggya obwakabaka ku Sawulo okubumuwa, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyali:
24abasajja ba Yuda abaakwatanga engabo nʼeffumu baali kakaaga mu lunaana abeetegese okulwana;
25abasajja ba Simyoni, baali kasanvu mu kikumi;
25
26abasajja ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga;
27ngʼomwo mwe muli Yekoyaada omukulu wʼennyumba ya Alooni nʼabasajja enkumi ssatu mu lusanvu;
28Ne Zadooki omuvubuka omulwanyi era omuzira, nʼabakungu okuva mu nnyumba ye amakumi abiri mu babiri.
28
29Abalala baali abasajja aba Benyamini, baganda ba Sawulo, nga bali enkumi ssatu, era okutuusa ku lunaku olwo abo baali banyweredde ku ludda lwa Sawulo;
29
30abasajja aba Efulayimu, abalwanyi abazira, ngʼera batutumufu mu nda zaabwe, baali emitwalo ebiri mu lunaana;
30
31abasajja ku kitundu ekyʼekika kya Manase, abaayatulwa erinnya okujja okufuula Dawudi kabaka baali omutwalo gumu mu kanaana;
31
32abasajja aba Isakaali abategeera ebiseera, ne bamanya ebigwanidde Isirayiri baali abakulembeze ebikumi bibiri, nʼabʼeŋŋanda zaabwe bonna abaabagobereranga;
32
33abasajja aba Zebbulooni, nga baserikale bamanyirivu mu byʼentalo, nga balina buli kya kulwanyisa kyonna, abayamba Dawudi nʼomutima gumu baali emitwalo etaano;
33
34abasajja aba Nafutaali baali abakulu lukumi, nʼabasajja abaakwatanga engabo nʼamafumu nga bali emitwalo esatu mu kasanvu;
34
35abasajja aba Ddaani baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga;
35
36abasajja aba Aseri, nga baserikale bamanyirivu mu ntalo baali emitwalo ena;
36
37emitala wa Yoludaani, wavaayo abasajja aba Lewubeeni, aba Gaadi, nʼekitundu kyʼekika kya Manase, abaalina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri, nga bali emitwalo kkumi nʼebiri.
38Abo bonna baali basajja balwanyi abeewaayo mu bitiibwa byabwe, ne bajja e Kebbulooni okuweereza nʼokufuula Dawudi kabaka wa Isirayiri yenna.
39Eyo ne bamalayo ennaku ssatu ne Dawudi nga balya, nga banywa, ebyo abʼeŋŋanda zaabwe bye baali babasibiridde.
40Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe abʼe Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ezʼettiini, nʼebirimba ebyʼezabbibu, nʼomwenge, nʼamafuta, nʼente nʼendiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri.