1 Ebyomumirembe 13:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Dawudi nʼateesa nʼabaduumizi be abʼenkumi nʼabʼekikumi.

2Nʼayogera eri ekkuŋŋaaniro lyʼabantu bonna aba Isirayiri nti, “Bwe munaasiima, era nga kwe kusiima kwa Mukama Katonda waffe, ekigambo kitwalibwe era kibune eri baganda baffe mu nsi yonna eya Isirayiri, nʼeri bakabona, nʼAbaleevi ababeera nabo mu bibuga byabwe ne mu malundiro, bajje batwegatteko.

3Tukomyewo essanduuko ya Katonda waffe, kubanga tetwamwebuuzangako mu mirembe gya Sawulo.”

4Olukuŋŋaana lwonna ne likikiriziganyako, kubanga kyʼalabika nga kigambo kirungi mu maaso gʼabantu bonna.

5 Awo Dawudi nʼakuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva ku Sikoli omugga gwʼe Misiri okutuuka ku wayingirirwa e Kamasi, nʼaleeta essanduuko ya Katonda okugiggya e Kiriyasuyalimu.

6 Dawudi nʼAbayisirayiri bonna ne bagenda e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda atuula ku ntebe eyʼobwakabaka wakati wa bakerubi, eyitibwa erinnya lya Mukama.

7 Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya okuva mu nnyumba ya Abinadaabu, nga Uzza ne Akiyo be bagikulembera.

8Dawudi ne Isirayiri yenna ne basanyuka nnyo mu maaso ga Katonda nʼamaanyi gaabwe gonna, nga bayimba nga bakuba entongooli, nʼennanga, nʼebitaasa, nʼebisaala, nʼamakondeere.

9Bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, ente ezaali zisika essanduuko ne zeesittalamu, Uzza nʼagolola omukono gwe okutereeza essanduuko.

10Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, nʼafiirawo, kubanga yakwata ku ssanduuko. Nʼafiira mu maaso ga Katonda.

11 Awo Dawudi nʼanyiiga nnyo kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, era ekifo ekyo ne kituumibwa Perezuzza, ne leero.

12Dawudi nʼatya nnyo Katonda ku lunaku olwo, nʼabuuza nti, “Nnyinza ntya okuleeta essanduuko ya Katonda gye ndi?”

13Awo nʼatatwala ssanduuko mu kibuga kya Dawudi, naye nʼagitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.

14 Essanduuko ya Katonda nʼebeera mu maka ga Obededomu okumala emyezi esatu, ne Mukama nʼawa ennyumba ye nʼebintu bye byonna omukisa.

cle>