1 Ebyomumirembe 14:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Kabaka Kiramu owʼe Ttuulo nʼatuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda nʼabazimbi bʼamayinja, nʼababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri.

2 Awo Dawudi nʼategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga nʼobwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olwʼabantu ba Mukama Isirayiri.

3Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi nʼaboobuwala.

4Amannya gʼabaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani,

5 ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti,

6ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya,

7ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti.

8 Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi nʼakiwulirako era nʼagenda okubatabaala.

9Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu;

10 Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama nʼamuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”

11Awo Dawudi nʼayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, nʼatabaala Abafirisuuti nʼabawangula. Nʼayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange nʼomukono gwe, ngʼamazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kye kyava kituumibwa Baaluperazimu.

12Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi nʼalagira okwokya balubaale abo.

13Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu.

14Awo Dawudi nʼaddamu ne yeebuuza ku Mukama, Mukama nʼamuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ngʼobafuluma mu maaso gʼemitugunda.

15Awo bwʼonoowulira eddoboozi eryʼokukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye lyʼAbafirisuuti.”

16 Dawudi nʼakola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye lyʼAbafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.

17 Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama nʼaleetera amawanga gonna okutya Dawudi.

cle>