1 Ebyomumirembe 15:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Dawudi bwe yamala okwezimbira embiri ze mu kibuga kya Dawudi, nʼategekera essanduuko ya Katonda ekifo, nʼagikubira eweema.

2 Awo Dawudi nʼayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era nʼokumuweerezanga ennaku zonna.”

3Dawudi nʼakuŋŋaanya Abayisirayiri bonna mu Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.

4Nʼayita abazzukulu ba Alooni nʼAbaleevi;

5Ku bazzukulu ba Kokasi, Uliyeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu abiri;

6ku bazzukulu ba Merali,

6Asaya omukulembeze ne baganda be bibiri mu abiri;

7ku bazzukulu ba Gerusomu,

7Yoweeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu asatu;

8Ku bazzukulu ba Erizafani,

8Semaaya omukulembeze ne baganda be ebikumi bibiri,

9ku bazzukulu ba Kebbulooni,

9Eryeri omukulembeze ne baganda be kinaana;

10ku bazzukulu ba Wuziyeeri,

10Amminadaabu omukulembeze ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri.

11Awo Dawudi nʼatumya Zadooki ne Abiyasaali bakabona, ne Uliyeri, ne Asaya, ne Yoweeri, ne Semaaya, ne Eryeri ne Amminadaabu Abaleevi,

12nʼabagamba nti, “Mmwe bakulembeze mu nnyumba zʼAbaleevi, era mmwe ne baganda bammwe mujja kwetukuza, mulyoke mwambuse essanduuko ya Mukama Katonda wa Isirayiri, okugiteeka mu kifo kye ngitegekedde.

13Kubanga mmwe temwagisitula omulundi ogwasooka Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira, olwʼobutamwebuuzaako okutegeera nga bwe kyalagibwa.”

14Awo bakabona nʼAbaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama, Katonda wa Isirayiri.

15Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Mukama ku bibegabega byabwe nʼemisituliro gyako, nga Musa bwe yalagira, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyali.

16Awo Dawudi nʼalagira abakulembeze bʼAbaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ezʼessanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, nʼennanga, nʼebitaasa.

17Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri, ku baganda be ne balonda Asafu mutabani wa Berekiya, ne ku batabani ba Merali, baganda baabwe, ne balonda Esani mutabani wa Kusaya;

18ne baganda baabwe abaabaddiriranga nga be ba Zekkaliya, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, nʼabaggazi Obededomu ne Yeyeeri,

19ne Kemani, ne Asafu, ne Esani abayimbi abaalina okukuba ebitaasa ebyʼebikomo;

20ne Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya ne Benaya baali baakukuba entongooli ezʼekyalamosi;

21naye Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, ne Azaziya baali baakukulemberamu nga bakuba ennanga ezʼekiseminisi.

22Kenaniya omukulembeze wʼAbaleevi mu byʼokuyimba, avunaanyizibwe ebyʼokuyimba kubanga yali mukugu mu byo.

23Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi bʼomulyango gwʼekifo essanduuko mwʼebeera.

24Sebaniya, ne Yosafaati, ne Nesaneri, ne Amasayi, ne Zekkaliya, ne Benaya, ne Eryeza be bakabona abaafuuwanga amakondeere mu maaso gʼessanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yekiya nʼabo baali baggazi bʼomulyango gwʼekifo essanduuko mwʼebeera.

25Awo Dawudi nʼabakadde aba Isirayiri, nʼabaduumizi bʼenkumi ne bagenda okwambusa essanduuko eyʼendagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu nga basanyuka.

26Olwʼokubeera Katonda kwe yabeera Abaleevi abaali basitudde essanduuko eyʼendagaano ya Mukama, baawaayo sseddume zʼente musanvu ne zʼendiga musanvu nga ssaddaaka.

27 Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ngʼAbaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ngʼabayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde nʼekkanzu eya linena.

28Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko eyʼendagaano ya Mukama nga baleekaana nʼamaloboozi agʼessanyu, nʼeddoboozi eryʼeŋŋombe, eryʼamakondeere, nʼebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli nʼennanga.

29 Awo essanduuko eyʼendagaano ya Mukama bwe yali ngʼeyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo nʼalingiza mu ddirisa, nʼalaba Kabaka Dawudi ngʼazina era ngʼajjaguza, nʼamunyooma mu mutima gwe.

cle>