1 Ebyomumirembe 16:1-43 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe eri Katonda.

2 Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe, nʼasabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama,

3era nʼagabira buli Muyisirayiri omusajja nʼomukazi, omugaati nʼekitole ekyʼezabbibu enkalu, nʼekiyungula kyʼennyama.

4Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso gʼessanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri.

5Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya nʼamuddirira, Yeyeeri nʼaddako, nʼoluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, abookukuba entongooli nʼennanga, Asafu ye ngʼakuba ebitaasa.

6Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso gʼessanduuko eyʼendagaano ya Katonda.

7Awo ku lunaku olwo, Dawudi nʼalagira Asafu nʼabantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:

8Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.

9Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza mwogere ku byamagero bye byonna.

10Erinnya lye ligulumizibwe, nʼemitima gyʼabo abanoonya Mukama gisanyuke.

11Mutunuulire Mukama nʼamaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna.

12Mujjukire ebyewuunyo byʼakoze, nʼebyamagero bye, nʼensala ye eyʼemisango gyʼalangirira,

13Mmwe zadde lya Isirayiri omuweereza we, mmwe abazzukulu ba Yakobo, era abalonde be.

13

14Ye Mukama Katonda waffe; okusalawo kwe okwʼemisango kubuna ensi yonna.

15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna, nʼekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,

16gye yalagaana ne Ibulayimu, era nʼagirayiza Isaaka.

17Nʼaginyweza ngʼetteeka eri Yakobo, nʼeri Isirayiri ngʼendagaano eyʼolubeerera,

18ngʼagamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ngʼomugabo, ogwʼobusika bwo.”

18

19Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono, era omutono ddala, nga batambuze mu yo,

20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala, nʼokuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.

21Teyaganya muntu nʼomu kubanyigiriza; weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:

22ngʼagamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, so bannabbi bange temubakolanga akabi.”

22

23Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.

24Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, nʼebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

25Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa; era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.

26Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu.

27Ekitiibwa nʼobukulu biri mu maaso ge, amaanyi nʼessanyu biri wamu naye.

28Muyimuse Mukama, mmwe ebika ebyʼamawanga, muyimusize Mukama ekitiibwa nʼamaanyi,

29Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge; musinze Mukama mu kitiibwa kyʼobutukuvu bwe.

30Mukankane mu maaso ge ensi yonna, weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.

31Eggulu lisanyuke, nʼensi ejaguze; boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!

32Ennyanja ewuume, nʼebigirimu byonna, nʼennimiro zijaguze, nʼokujjula kwazo!

33Awo emiti egyʼomu kibira ginaayimba, ginaayimbira Mukama nʼessanyu, kubanga akomawo okusalira ensi omusango.”

33

34“Weebaze Mukama kubanga mulungi; era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

35Mwogerere waggulu nti, ‘Tulokole, Ayi Katonda owʼobulokozi bwaffe; tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga, twebaze erinnya lyo ettukuvu, era tujagulize mu ttendo lyo.

36Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri owʼemirembe nʼemirembe.’ ”

36Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”

37Awo Dawudi nʼaleka Asafu nʼababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso gʼessanduuko eyʼendagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku.

38Obededomu nʼababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.

39Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso gʼeweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni

40okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri.

41Kemani ne Yedusuni nʼabalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.

42Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, nʼokukuba ebitaasa, nʼokukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.

43Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi nʼaddayo okusabira ennyumba ye omukisa.

cle>