1 Ebyomumirembe 17:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Dawudi ngʼamaze okukkalira mu nnyumba ye mu lubiri, nʼagamba nnabbi Nasani nti, “Teebereza, nze mbeera mu lubiri olwazimbibwa nʼemivule, naye nga essanduuko eyʼendagaano ya Mukama ebeera mu weema.”

2Nasani nʼaddamu Dawudi nti, “Kyʼolowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.”

3Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,

4“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti si gwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga.

5Sibeeranga mu nnyumba kasookedde nzija Isirayiri mu Misiri, okutuusa ku lunaku lwa leero. Nvudde mu weema emu ne nzira mu ndala, ne nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala.

6Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kwʼabo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba eyʼemivule?” ’ ”

7“Kaakano nno tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼeggye nti, nakuggya ku ttale ngʼolunda ndiga, ne nkufuula omukulembeze owʼabantu bange Isirayiri.

8Mbadde naawe buli gyʼogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ngʼerimu ku gʼabasajja abamanyiddwa mu nsi.

9Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe ekyʼolubeerera, nga tebatawanyizibwa, nʼabantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye,

10era nga bwe bakola kati kasookedde nnonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi okuba omukulembeze wʼabantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi eri abalabe bo bonna.’ ”

10“Nkirangirira gyʼoli kaakano nti Mukama alikuzimbira ennyumba:

11Ennaku zo bwe zirituuka, era nʼogenda okubeera ne bajjajjaabo, ndiyimusa ezzadde lyo okuba obusika bwo, omu ku batabani bo ddala, era ndinyweza obwakabaka bwe.

12Oyo yʼalinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe eyʼobwakabaka bwe emirembe gyonna.

13 Ndiba kitaawe, naye aliba mwana wange, era sirimukyawa, nga bwe nakyawa oyo eyakusooka.

14 Ye yʼaliba omukulu mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna, era entebe ye eyʼobwakabaka eribeerera emirembe gyonna.”

15Awo Nasani nʼategeeza Dawudi ebigambo byonna ebyʼokubikkulirwa okwo.

16Awo Kabaka Dawudi nʼagenda nʼatuula mu maaso ga Mukama nʼayogera nti, “Nze ani, Ayi Mukama Katonda, era ennyumba yange kye ki, gwe okuntuusa wano?

17Kino tekyali kitono mu maaso go, okwogera ku bigenda okuba ku nnyumba eyʼomuddu wo, nʼontunuulira ngʼomu ku basajja abasingirayo ddala ekitiibwa, Ayi Mukama Katonda.”

18“Dawudi ayinza kwongerako ki ku ebyo okumuwa ekitiibwa bwe kityo, kubanga ggwe omanyi omuddu wo.

19Olwʼomuddu wo Ayi Mukama Katonda, nʼolwʼokusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, era nʼosuubiza ebintu ebyo byonna ebikulu bwe bityo.”

20 “Tewaliwo akufaanana, Ayi Mukama, era tewali Katonda mulala wabula ggwe, okusinziira ku bye twewuliridde nʼamatu gaffe.

21Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ngʼabantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye wanunula ggwe kennyini, ne weekolera erinnya, era nʼokola ebikolwa ebyʼamaanyi, nʼebyewunyisa bwe wagoba amawanga okuva mu maaso gʼabantu bo, be wanunula okuva mu Misiri?

22Abantu bo Abayisirayiri wabafuulira ddala babo emirembe gyonna, era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.”

23“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza omuddu wo nʼennyumba ye kinywezebwe emirembe gyonna.

24Kola nga bwe wasuubiza, erinnya lyo linywezebwenga era ligulumizibwenga emirembe gyonna, nʼabantu boogerenga nti, Mukama owʼEggye, Katonda afuga Isirayiri, ye Katonda wa Isirayiri! Era ennyumba eyʼomuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.”

25“Ayi Katonda wange, wakibikulidde omuddu wo nti olimuzimbira ennyumba, era omuddu wo kyavudde ajja okukwebaza.

26Ggwe Ayi Mukama oli Katonda, era osuubizza omuddu wo ebirungi ebyo.

27Kaakano osiimye okuwa ennyumba eyʼomuddu wo omukisa, ebeerewo emirembe gyonna mu maaso go kubanga, ggwe Ayi Mukama Katonda ogiwadde omukisa, era egya kuba ya mukisa emirembe gyonna.”

cle>