1 Ebyomumirembe 18:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Awo oluvannyuma lwʼebyo, Dawudi nʼawangula Abafirisuuti, era nʼawamba ne Gaasi nʼebyalo ebyali bikyetoolodde okuva mu mukono gwʼAbafirisuuti.

2Dawudi nʼawangula nʼAbamowaabu, ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga obusuulu.

3Ate era Dawudi yalwanagana ne Kadalezeri kabaka wʼe Zoba okutuukira ddala e Kamasi, bwe yali ngʼanyweza okufuga kwe ku nsalo eyʼOmugga Fulaati.

4Dawudi nʼamuwambako amagaali lukumi, nʼabeebagala embalaasi abasajja kasanvu, nʼabasajja abeebigere emitwalo ebiri. Embalaasi endala zonna ezʼamagaali nʼazitema enteega, ne yeerekerawo kikumi.

5Awo Abasuuli abʼe Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka wʼe Zoba, Dawudi nʼabattamu abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.

6Nʼateeka olusiisira lwʼeggye lye mu Busuuli e Ddamasiko, era Abasuuli baafuuka baweereza be, ne bamutonera ebirabo. Mukama nʼawa Dawudi obuwanguzi buli gye yatabaalanga.

7Dawudi nʼatwala engabo eza zaabu abaserikale ba Kadalezeri ze baasitulanga, nʼazireeta e Yerusaalemi.

8 Mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri nʼaggyayo ebikomo bingi nnyo, era ebyo Sulemaani bye yakolamu ennyanja eyʼekikomo, nʼempagi, nʼebintu ebyʼebikomo ebirala.

9Awo kabaka Toowu owʼe Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, kabaka wʼe Zoba

10nʼatuma mutabani we Kadolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako nʼokumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri, kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toowu. Kadolaamu yaleeta zaabu, nʼeffeeza, nʼebikomo, nga bya ngeri za ngyawulo.

11Ebintu byonna ebyaleetebwa, kabaka Dawudi yabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu gye yawamba ku mawanga amalala nga Edomu ne Mowaabu, nʼAbamoni, nʼAbafirisuuti, ne Amaleki.

12Ye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yattira abasajja ba Edomu omutwalo gumu mu kanaana mu Kiwonvu ekyʼOmunnyo.

13Era yateeka olusiisira lwa baserikale mu Edomu, era aba Edomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Mukama nʼawa Dawudi obuwanguzi mu bifo byonna gye yatabaalanga.

14Dawudi nʼafuga Isirayiri yenna, mu bwenkanya ne mu butuukirivu abantu be bonna.

15Yowaabu mutabani wa Seruyiya ye yali omuduumizi wʼeggye; Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza;

16 Zadooki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Savusa ye yali muwandiisi;

17Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yakuliranga Abakeresi nʼAbaperesi; ate batabani ba Dawudi baali bakungu bakulu ddala era nga babeera ku lusegere lwa kabaka.

cle>